Emboozi

Gavumenti eyongere amaanyi mu kutumbula ennima y’obutonde mu ggwanga

GAVUMENTI esabiddwa okwongera amaanyi mu kuwagira abavubuka naddala abali mu nnima y’obutonde esobole okutumbuka mu ggwanga kino kisobozese amakugula agalimiddwa mu nnima eno okweyongera n’abantu basobole okugafuna ku katale.

Abamu ku bammemba ba UYDNET, n’abamu ku bayizi ba Kizigo SS nga bamaze okukungula nnakati. Ku kkono ye, Bridget Kanabimanya ate wakati ye, Peter Muwulya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI esabiddwa okwongera amaanyi mu kuwagira abavubuka naddala abali mu nnima y’obutonde esobole okutumbuka mu ggwanga kino kisobozese amakugula agalimiddwa mu nnima eno okweyongera n’abantu basobole okugafuna ku katale.
Bino byayogeddwa Esther Nakazibwe omu ku bavubuka abeegattira mu kibiina kya Uganda Youth At Risk Development Network (UYDNET) abasangibwa ku kyalo Kizigo mu divizoni y’e Najjembe mu disitulikiti y’e Buikwe. Bano balima n’okukola ebintu eby’enjawulo omuli eddagala n’ekigimusa eky’obutonde bye bakozesa mu nnimiro zaabwe okufuna amakungula amalungi ate nga teboonoonye butonde bwa nsi.
Bano mu bye bakola ebirala mwemuli okulima enva endiirwa ez’ebika eby’enjawulo ze batunda mu butale obw’enjawulo obubaliraanye omuli ak’e Najjembe, Lugazi n’obulala nga eky’essanyu kye balina kwekuba nga batandise okufuna bakasitoma ab’olulango ababagulako amakungula gaabwe nga beesigama ku kuba nga ebirime byabwe birimiddwa mu ngeri ya butonde.
Esther Nakazibwe yagambye nti, mu kiseera kino abavubuka abali mu kibiina kya UYDNET bangi embeera yaabwe ey’ebyenfuna etandise okutumbuka newankubadde nga wakyaliwo ebintu Gavumenti by’erina okwongeramu amaanyi ennima y’obutonde esobole okutumbuka.
okuyamba ku balimi ab’enkola zonna omuli ab’obutonde n’abatali ba butonde.
Wano we twebaliza ebitongole okugeza nga ekya Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) olw’okubeera ebisaale mu kusomesa abalimi ennima ey’obutonde ate n’engeri gye basobola okukuumamu

14 Bukedde
Mmande June 8, 2026
OBUTALE OBUTUNDA EBIRIME EBY’OBUTONDE BWETAAGA NE BWEYONGERA OBUNGI
Nakazibwe agamba nti: Bwe tukungula ebirime byaffe ng’enva endiirwa, tufuna okusoomoozebwa nti, bwe tubitwala mu katale, ebiseera ebisinga ate tuliraana abantu abalala ababa batunda ebintu ebyalimibwa mu nkola eteri ya butonde ekitta omutindo.
Ekisobola okuyambako mu mbeera eno, ye Gavumenti okuvaayo n’enteekateeka ey’enjawulo n’ezimba obutale okwetooloola eggwanga lyonna nga butunda birime bya butonde byokka. Kino bwe kikolebwa, ne Bannayuganda abaagala okulya emmere erimiddwa mu nnima y’obutonde baba bajja kwanguyirwa okubifuna okusinga okubisanga nga byetabudde n’ebirime ebifuuyirwako eddagala eritali lya butonde.
Era okusobola okutumbula ennima eno, Gavumenti esaana n’efuna abalimisa n’ebateeka mu bitundu eby’enjawulo gamba nga ku disitulikiti oba ku ggombolola naye ng’amaanyi gaabwe bagateeka ku nnima y’obutonde.
Kino kijja kuwewula ku balimisa abaliwo kati ababa balinaomutindo gw’amakungula gaabwe okulaba nga gettanirwa ku katale olwo n’abalimi ne beeyongera okufuna mu ntuuyo zaabwe.
ENNIMA Y’OBUTONDE ESAANA
NE YEEYONGERA OKUSOMESEBWA MU MASOMERO KU MITENDERA EGY’ENJAWULO
Nakazibwe agamba nti: Mu kaweefube w’okulaba ng’ennima y’obutonde eyongera okutumbulwa mu ggwanga, ekibiina kya UYDNET kikolagana n’amasomero ag’enjawulo omuli aga Pulayimale ne siniya ne kisomesa abayizi ennima eno.
Erimu ku masomero agasomesebwa ennima y’obutonde lye lya Kizigo Senior Secondary School. Abayizi ku ssomero lino basomesebwa engeri gye basobola okukozesaamu ebintu ebibeetoolodde okukolamu ebigimusa wamu n’eddala ly’obutonde erisobola okweyambisibwa mu nnimiro.
Mu ngeri y’emu abayizi basomesebwa engeri y’okulima ebintu eby’enjawulo naddala enva endiirwa era mu nkola ey’obutonde, kino kiyambako ku ndya ennungi mu maka ate ng’omuyizi asobola n’okutunda amakungula ge n’abaako ssente z’afuna ezimuyamba okwetuusaako ebyetaago eby’enjawulo.
Wano we tusabira Gavumenti, enkola eno egitambuze ne mu masomero amalala, omwana akule ng’akimanyi nti, ennima y’obutonde y’esobola okuvaamu emmere ennamu era eterina wadde obulabe eri obulamu bw’omuntu ate nga bw’ejjumbirwa mu ngeri eyeetaagisa, esobola n’okutaasa obutonde bw’ensi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: