Gal Sport Betting eddizza ku bakasitooma baayo abasinga okugiwagira, enteekateeka eno bagitadde obukadde 250.
Bakafulu mu beetingi baateekawo akalulu ka Lumba Ovimbe Mu Kyensi Yonna kebaatongoza nga November 2 ne katambula okutuuka December 18. Fayinolo ya World Cup olwawedde ne bakuba akalulu okulonda abawanguzi.
Abantu nga balaga ebintu ebibaweereddwa Gal Bet
Akalulu mwe baagabidde ebirabo baakakwatidde Kawempe ne bagaba pikipiki 10, ffiriigi, entebe sofa sets, essimu Smartphone, ebitereke by’ebirabo n’ebirabo ebirala ebiwerako.
Kigula Paul omukungu wa kkampuni eno yategeezezza nti ekigendererwa ekikulu mu kalulu kano kwali kuddiza ku bakasitooma mu kiseera ng’empaka za World Cup zizannyibwa era n’abeebaza okuwagiranga GSB Uganda.
Abantu nga bafuna ku bya ssava bya Gal Bet
Abawanguzi 100 baakwasiddwa ebirabo byabwe okuva mu Gal Sport Betting n’okubakubiriza okuzannya zzaala n’obuvunaanyizibwa wamu n’okukugira abataweza myaka 25 okwewala okwetaba mu betting.