Amawulire

Enkwe n'obutayagaliza bibasusse! - Omusumba ayatulidde Abakristaayo

Omusumba agambye nti emitima gya Bakristaayo gijjudde amajimbi era nga bangi baseka ku ngulu naye emitima gijjudde enge.

Enkwe n'obutayagaliza bibasusse! - Omusumba ayatulidde Abakristaayo
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Omusumba yeekokkodde enkwe, obutayagaliza  n’effutwa ebifumbekedde mu Bakristaayo n’abasaba okukozesa amazaalibwa ga Yesu Kristo okwezza obuggya.

Agambye nti emitima gya Bakristaayo gijjudde amajimbi era nga bangi baseka ku ngulu naye emitima gijjudde enge.

Brig. Gen. Kinaalwa (ku ddyo) ne Nelson Kanyike Omukubiriza W'Obusaabadinkoni Bw'e Ndeeba Mu Bugerere.

Brig. Gen. Kinaalwa (ku ddyo) ne Nelson Kanyike Omukubiriza W'Obusaabadinkoni Bw'e Ndeeba Mu Bugerere.

Rev. Daniel Bernard Ssendagire, atwala Obusumba buno okwogera bino abadde akulembedde okusaba kwa Ssekukkulu gy’asiibulidde Abakristaayo ng’agenda ku kitebe ky’Obusaabadinkoni e Ndeeba gye yatumiddwa omwaka ogujja ogwa 2024.

Ekkanisa ya St. Stephen’s Church, nga kye kitebe ky’Obusumba bw’e Namagabi mu dsiitulikiti y’e Kayunga ejjudde n’ebooga mu kusaba kwa Ssekukkulu okw’omwaka guno.

Rev. Ssendagire bw’abadde ayigiriza abuuliridde Abakristaayo bayige okwekuumira ebyama era entalo zonna ezibatawanya bazikwase Katonda kubanga y’ayinza byonna. Yayongeddeko nti omuntu bwe yeerwanira tasobola kuvvuunuka bimusoomooza okuggyako ng’abikwasizza Katonda.

Rev. Ssendagire Ng'abuulira Ku Ssekukkulu.

Rev. Ssendagire Ng'abuulira Ku Ssekukkulu.

Rev. Ssendagire yagambye nti ebbanga ly’amaze ng’asumba Namagabi ebinyigiriza bibadde bingi ate nga ebisinga bireetebwa Abakristaayo ab’enkwe.

Omukubiriza w’Obusumba, Robert Lwasa ku lwa Bakristaayo yeetondedde Rev. Ssendagire byonna ebitagenze bulungi mu bbanga ery’omwaka ogumu n’emyezi ena gy’amaze mu kifo kino.

Tags:
Bakristaayo
Nge
Butaagaliza
Ssekukkulu
Kubuulira
Kwatulira