Emboozi

Ekibalo ky'okulima bbiring'anya ku yiika anaakuleetera amagoba

EMBEERA y’ebyenfuna egootaanye etakuza buli muntu okunoonya ky’ayinza okukola okufuna ssente naddala ez’amangu anti tewali amanyi mbeera bw'enaatereerera.

Ekibalo ky'okulima bbiring'anya ku yiika anaakuleetera amagoba
By: Herbert Musoke, Journalist @New Vision

 Ggwe asobeddwa, okimanyi nti osobola okufuna ssente ku kulima biring’anya n’ofuna ssente mu bwangu?

Tugenda kukubalira okulima yiika ya bbiring’anya wabula naawe ow’ettaka ettono osobola okwebala okusinziira ku bunene bw’olina oba bw’osobola.

Biring’anya yeetaaga ttaka likabaddwa. Wano kozesa tulakita nga yooka esobola okukabalwa ku 100,000/- ate ab’emikono basobola okutwala 150,000/-.

Osobola okukola kye kimu ku ntula.

Osobola okukola kye kimu ku ntula.

Ensigo ennungi egula wakati wa 10,000/- ne 30,000/-.

Ogenda kusooka kuyiwa bbeedi ng’eno eyinza okukumalako 100,000/-.

Ogenda kwetaaga abakozi basatu nga buli omu omusasula 150,000/- buli mwezi okumala emyezi esatu nga wano osaasaanya 900,000/-.

Ogenda kukozesa eddagala ly’okutta obuwuka naddala obuwojjolo obubiikako amagi omuva obusaanyi okumulya lya 300,000/-.

Mugenda kwetaaga ekigimusa kya 300,000/- .Omugatte gwa 1,780,000/-.

Bbiring'anya atuuse okukungulwa.

Bbiring'anya atuuse okukungulwa.

Ono asimbibwa mu mabanga ga sentimita 60 ku 75 nga wano ofuna ebikolo 8,888. Buli kikolo kikuwa kkiro 5 olwo buli emu n’ogitunda 1,000/- nga wano ofuna 5,000/- buli kikolo ate mu yiika n’ofuna obukadde 44.

Kyokka ssinga obeera otunda ku katale ka bulijjo oyinza okukungula ensawo 8 buli wiiki nga buli emu ogitunda 50,000/- n’obeera ng’oyingiza 400,000/- buli wiiki olwo omwezi n’ofuna 1,600,000/- okumala emyezi nga ena.

(Bikung’aanyiziddwa Herbert Musoke okuva ku John Senkali omukugu mu by’enva endiirwa mu kitongole kya Integrated Seed Sector Development (ISSD).

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Emboozi