Abantu banji baagala nnyo okulya ‘obulungi’ kyokka nga abandi bettanira emmere evaako omugejjo, bo kye batamanya nga balowooza ebisiike oba ebyokulya ebikolerere kwe kulya obulungi.
Oluusi owulira abantu nga beegeyaamu nga omu agamba munne nga bw’ageze, kyokka gwe bagamba okugejja nga tayagala kubiwulira!

Wettanire Nnyo Kacumbaali N'ebibala Okusinga Emmere Erimu Amasavu.
Obadde okimanyi nti osobola okusala omugejjo ate n’okuuma ka ffiga ako nga teweeyongeddeko? Goberera bino wammanga bikuyambe okukuuma omutindo naddala ggwe omukyala;
1. Lya emmere ntono ddala mu kigero. Tobeerawo kulya wabula lya, okubeerawo. Ekipimo ky’emmere ky’omanyiiza olubuto lwo omubiri gwo kwe gusinziira okweyongerako oba okwesalako.
2. Wettanire dduyiro waakiri ennaku 3 mu wiiki naddala ggwe akola emirimu egikwetaaza okutuula ebbanga eddene
3. Kyusa mu bika by’emmere by’olya. Bw’oba obadde olya nnyo emmere ereeta amaanyi nga akawunga, muwogo, omuceere, lyamu ebibala oba enva endiirwa ebitagezza.

Nywa Nnyo Amazzi Gakuyambe Okukuuma Omubiri Gwo Nga Gwa Maanyi.
4. Nywa nnyo amazzi oba juyisi gwe weekamulidde okugoba enjala ey’okumukumu oleme kuliiriira nnyo mu lunaku.
5. Kyusa obudde bw’oliiramu. Abasawo abakugu bagamba nti si kirungi kulya kyaggulo okusukka essaawa 2:00 ez’ekiro kuba omubiri guba tegusobola kukozesa mmere eyo, wabula ekugezza bugezza. Ekyenkya n’ekyemisana biriire mu budde ate mu kigero.
6. Weewale ssukaali omukolerere n’eng’ano. Bino biri nnyo mu byokulya ebikolerere mu fakitole.