Yiiya ssente; Bizinensi y'ebikajjjo efuna kiralu

12th August 2021

OKUTUNDA ebikajjo y'emu ku bizinensi eyeetaniddwa abavubuka mu Kampala n’emiriraano nga kizibu okutambula n’otasanga wa kigaali atunda bikajjo. 

Yiiya ssente; Bizinensi y'ebikajjjo efuna kiralu
NewVision Reporter
@NewVision
#Yiiya ssente #Bikajjo

Leero nga Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw'abavubuka, James Bahati akulaga engeri gyoyinza okufuna mu bizinensi y'okutunda ebikajjo. 

Bahati agamba nti kapito atandika omulimu guno tasukka mitwalo 10 ate ekigaali kigula emitwalo 5. Ekinywa ky’ebikajjo akisuubula wakati wa 8,000/= ne 11,000/= okusinziira ku bungi  bwabyo. Bahati ku bizinensi ye

Bahati ku bizinensi ye

Ono omulimu guno agukolerera ku Lutikko e Lubaga era agamba nti waliwo omuntu gwe yakwatagana naye n’amuwa ekifo w’akolera.

Era mu myaka ebiri gyagumazemu asobodde okuguzimba ennyumba mu kyalo gy’asibuka mu e Kisolo.

 Ekinywa ky'asuubula

Ekinywa ky'asuubula

Agamba nti olunaku akola amagoba agali wakati wa 15,000/= ne 20,000 kitegeeza nti omwezi asobola okutereka emitwalo 500,000/=. 

Okusomoozebwa kw’asanga; 

Enkyukakyuka mu mbeera y'obudde agamba nti ebikajjo bisinga kwettarwa mu kiseera kya musana ng'ekuba bw’etandika bakasitoma babeera batono era n’amagoba gakendeera. 

Agamba nti abaserikale ba KCCA bwe babakwata kapito gwe bamusanga naye bamutwala . 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.