'Buli ekiri ku Pallaso kinkolera'

Mu Ssanyu wa leero, Banks wa Pallaso akubuuzaako.

Banks wa Pallaso.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Pallaso #Omuyimbi #Ssanyu

Ye ggwe, gwe nalaba mu zimagaziini?
Eyo magaziini yaliko mutwe ki?
Si ggwe Biiru?
Olabika onneefaananyirizza.
Mbuulira ku mannya go omponye okwerogozza?
Otandikidde mu ggiya. Ofaaki n’ensi?
Njagala kumanya linnya lyo lyokka nga kiwedde.
Anti saagala ngwe mu nsobi
Ggwe atagenda kufuuka mwami mu luggya lw’ewaffe ensobi onooba okola yaaki ku linnya lyange?
Mpulira nnina enteekateeka nnenne gyoli.
Zikomeko zireme kutuuka wala.
Oba gwe Namazzi?
Mpita lya Banks wa Pallaso.
Ogamba Pallaso ono omuyimbi?
Kyekyo kyennyini.
Okola biki ewa Pallaso?
Ndi mu ttiimu Good Music.
Ekivvulu kibawuuba?
Okufa obufi.
Ky’ogamba, bwe nneeyiwamu ensimbi ne nzija mu kivvulu, naasobola okuddamu
okukulaba?
Ojja kundaba mu buliwo.
Kiki ky’osinga okwagala ku Pallaso?
Buli kimu ku ye kinkolera ate obuyimba buno bw’ayimba obw’omukwano, buba busuffu okukamala.

Olwo singa abaako obugambo bw’omukwano bw’akusuula, okkiriza?
Ekyo kikafuuwe. Siganza bassereebu.
Yiii.. oba otidde kukyatula?
Nze era nneewuunya abawala ababafiirako. Ndowooza babaamu amaalo.
Olinayo awujja akaseppiki ko?
Nga waaki mu kaseera kano?
‘Just’ abeerawo ku ‘near’ n’akubeesabeesa?
Obudde bwe nnina kati bwa kunoonya ssente. Obw’okutuula ne bambeesabeesa
sibulina.
Kati bw’oba toli ku mirimu gya Pallaso okola ki ekirala?
Ndi mukubi wa bikonde mu Sparks Boxing Academy.
Wamma onzijukizza. Nawulira nti abakubi b’ebikonde tebaba na laavu!
Ate eyaffe ebeera ssupa ky’ova olaba nze simala gagwa mu mukwano.
Wasemba ddi okubeera n’omwagalwa?
Mu 2017
Kati okuva olwo tokola saaviisi?
Ez’ekiyaaye nazikolako naye kati ndi mu luwummula.
Okimanyi osubwa essanyu ly’oku nsi?
Essanyu ntegeera lya ssente.
Obeera wa?
Kitintale
Ssereebu ki asinga okukolera ku Bukedde TV?
Phoebe, Ow’Oluyimba Lwo.
Biki ebikunyumira mu budde bw’eddembe?
Myuziki ow’okusinza.
Bw’ova eri nga bikukubye ate ng’odda ku ndongo ya Katonda?
Nedda ssebo! Nze sikozesa kitamiiza kyonna.
Mbuulira ku myaka gyo nkutye?
Ekyo kimu ku bibuuzo ebyangu okuddamu ku sayidi yange.
Anti gingambe abasomi ba Bukedde bakuggyireko enkoofiira
Mpezezza 26 egy’obuto.
Hooo... ggwe nkutidde!
Kale weeraba.