James Balya omulimu w’e Mboga akulaga engeri gy’oyinza okufuna mu bulumi bw’e Mboga.
Balya agamba nti ensigo ey’emboga ku katale egula wakati wa 12,000-15,000/= e saketi.
Okugejja obulungi olina okugiwa ebbanga ery'ekigero okuva ku kinnya okutuuka ku kirala
Wabula nga zino olina okusooka okuzikolerera akalimiro ka nassale okumala ennaku 28.
Mu kiseera kino ne bw’oba wali tonnateekateeka bulungi kifo w’ogenda kusimba we kigwerako obeera omazze okutegeka.
Olina okukozesa eddagala eritta ebiwuka okufuuyirako nga zikyali mu nassale ssaako okukozesa ku kigimusa nga nnakavundira , obukuta bw’enkoko z'amagi oba ebigimusa ebizungu.
Mu kinnya bw’oba tonnasimbuliza bw’oteekamu ekigimusa kino kiyamba emirandira gy’emboga yo okusituuka n'amanyi.
Okusimbuliza okukolebwa ku makya oba akawungezi era bwekibeera kiseera kya musana olina okufaayo okufukirirwa ku makya n'olweggulo okusinziira ku mbeera y'ettaka.
By’olina okwekkenneenya ku kulina emboga obutafiirwa. Emboga tezikolegana n'amazzi mangi gazivunza ate n'omusana omungi guzita n'olwekyo olina okubeera n'obusobozi obufukirira bwoba ozisimbye ku lukalu.
Ate asimbye mu Kisenyi teekamu emifulejje egitambuza amazzi.
Zitera okutawaanyizibwa ennyo obusaanyi obwekweka mu makola buno ssinga tobwanguyira buyinza okuziviirako okuvunda.
Ennimiro y'emboga tesaana kubeeramu muddo. Asobola gibikke. Omuddo gugaana emboga okukula obulungi ssaako okuleeta ebiwuka mu nnimiro.
Emboga za ttunzi wano mu ggwanga n’ebweru. Emboga bw’egejja obulungi ku nnimiro egula wakati we 500/= ne 700/= ekitegeza nti bw’obeera n’ebikolo by’emboga 10,000/= okusinziira ku bunene bw’oba olimye obuli wakati w'obukadde 5,000,000/ ku 7,000,000/=.
Ku zino bw’oggyako ez'okulima, ensigo, eddagala, ebigimusa n'ebirala tolemwa kusigazaawo .