Obadde okimanyi nti OLUWUMU terulina bulumi bwe lussa ku muntu, wabula lwe lumu ku ndwadde z’oku lususu olulabisa obubi omuntu, ate nga asobola okulusiiga n’omuntu omulala ssinga omubiri gw’alira gukwatagana n’ogw’omuntu atalulina oba ssinga babeera bagabana amasaati nga buli omu ayambala essaati ya munne.
Ekirungi osobola okululwanyisa n’olwevumurira ng’okozesa ebikwetoolodde awaka omuli emiddo, emiti n’ebintu ebirala ng’ekisula.
Ebikoola By'ensujju Biyamba Mu Kuvumula Oluwumu.
Bw’ofuna ekisula omogolako ekitundu n’okikoonakoona ne kigonda, oluvannyuma n’okiyiwa mu mazzi g’otadde mu kintu ekitonotono ka kibeere kikebe.
Wabula mu kikebe amazzi oyiwamu ga kigero ate ekisula kyo n’ossaamu ekiwerako olumaliriza okubinyeenya ne byetabula bulungi ng’okibikkako ng’olinda enkeera waalwo.
Obudde we bukya ng’ofuna akagoye/akawero akayonjo ng’otandika okukannyikangamu nga bwe weesiiga ku mugongo, oba ekitundu kyonna ku mubiri gwo ekiriko oluwumu.
Bw’obeera tokozesezza kisula, osobola okufuna akanzironziro obo ebikoola bya matungulu, oba ekibala ky’ettungulu kyennyini, era nga ky’ofunye kyonna ku bino okisekulamu ensaano n’ogissa mu bizigo bino ebya bulijjo n’otandika okwesiiganga okutuuka lw’ofunawo enjawulo.
Wabula, ebikoola by’ettungulu n’ekibala kyakwo ssinga kibeera kibaddeko osobola okubitokosa n’onywangako, era nawo bikuyamba.
Osobola n’okufuna ebikanja by’omwenge omuganda obiyengeremu ebikoola bya matungulu ebyesigenga buli lw’omaliriza okunaaba.
Naye n’akangwe akaganda nga kakyali kato nako kakuyamba ku luwumu. Ky’okola bw’okanogayo okagagambulako olukuta olw’oku ngulu n’okeeyisangako ku mubiri awali oluwumu ng’omalirizza okunaaba.
Ebintu byako ebinaanuuka obireka ne bikalirawo n’obinaabako enkeera waalwo. Bw’okozesa ebyo n’olaba ng’oluwumu lukyakulemeddeko, noonya ekifuula, akatuntunu, mageregankoko, ebikoola by’ensugga, omucula, kafumbe, n’oluwoko obisekulire wamu osiigenga awali oluwumu ng’omalirizza okunaaba.
Ate ne bw’obeera toli mu mbeera osobola okwesiiga bikoola bino by’osekuliddewo nga bibisi, osobola okubikaza n’obisekulamu ensaano n’ogissa mu bizigo n’obyesiiganga buli lw’ova okunaaba kumakya n’olweggulo.
Akajjampuni nako kalungi ku luwumu. Kano ko onoga bukoola bwako n’obuyenga ne weesiiga awali oluwumu, ate nga nako osobola okukakolamu ensaano era n’ogissa mu bizigo ne weesiganga.