EKIZIBU eky’okubundula amazzi agawunya kitera okuba mu bakyala, nga kiva ku kulemwa okwerabirira nga tonaaba bulungi, ssaako endwadde ez’ekikaba.
Okubundula kyeraliikiriza kuba akasu akakuvaamu kakugobako n’abaagalwa.
E Busoga, embeera eno ekkakkanyizibwa n’ebikolo by’eddagala lya Jjajja okuli ebibajjo eby’ekinalisa, obuti bw’ensugga, ebibajjo eby’ekirama ne kamunye n’ogattamu n’ebikoola by’ekifumufumu.
Hope Nakisige ow’e Kitegamu ggombolola y’e Bukamba e Kaliro, agamba nti, bino obifumba n’ofunamu ekirungo, ky’onywa akatundu ka tampeko emirundi esatu olunaku okutuusa ng’oteredde