EMMOTOKA zitera okufuna ekizibu kya ‘Shafuta’ abamu ze baakazaako erya ‘ebigulu’.
Shafuta y’emmotoka bw’efuna obuzibu oba nga yeefunyizza, erina ebizibu by’ereeta omuli
n’okulemesa emmotoka okutambula obulungi.
Biibino ebintu 7 ebiyinza okwonoona shafuta
l Okukozesa giriisi atatuukanye na mutindo.
l Okulwawo nga tokyusa Shafuta. Bwe ziggwaako enjola zitandika okwerya.
l Obucaafu bwe buyingira mu shafuta.
l Obudde obw’ebbugumu eringi amasasi gayinza okwegatta ne ggiriisi ne byonoona enjola.
l Obutatereeza mipiira gya mmotoka naddala ng’ogikyusizza n’otogitwala kugitereeza.
l Oluusi kisinziira ku kika,waliwo eziwangaala wakati w’emyezi esatu ku musanvu. Ezo ze za layisi ate ez’ebbeeyi ziwangaala wakati w’omwaka ku ebiri.
l Okuziteekamu obubi. Singa oba ogivuga nga baakagiteekamu n’owulira nga yeekuuta ku mipiira kiba kitegeeza tetuddeemu bulungi.