Abaasiba Morrocco okuwangula AFCON GSB egenda kubasasula
Mu ngeri y’okukuuma omutindo, okunnyikiza obwenkanya n’okutuukiriza obweyamo eri bakasitoma, kkampuni ya GSB Uganda (Gal Sport Betting) egenda kusasula abaasiba ssente ku Morrocco okuwangula ekikopo kya Africa Cup of Nations (AFCON).
Kino kiddiridde ensasagge eyagwawo wiiki ewedde ekibiina ekikulira omupiira gw'omupiira mu Afrika ekya CAF bwe kyasalawo okuwa Morrocco obuwanguzi bwa ggoolo ssatu ku bwereere (3-0 victory) era ne bakakasibwa nti be bannantameggwa (champions).
Yadde ng’okusalawo kuno kwabobbya abawagizi b’omupiira bangi emitwe n’okukubagana empawa, GSB Uganda yasazeewo okukulembeza bakasitoma baayo ng’esasula abo bonna abaasiba ku Morocco okuwangula.
“Embeera bweti eyongera okukakasa n’okunnyikiza kyetuli,” Amit, akulira GSB Uganda bwe yagambye.
“`Bakasitoma baffe batwesiga nnyo bwe kituuka mu kubawa odds ennungi, obwenkanya n’obwesigwa.” Yayongeddeko nti okusasula abaasiba ku Morrocco kiraga nti ekitongole kituukiriza bye kisuubiza.
Obuwanguzi mu kisaawe n’ebweru waakyo
Kibeera kizibu okusanga kkampuni oba abantu bassekinnoomu abeesigwa mu bizinensi ya zzaala.
Wabula GSB Uganda eyawukana ku balala era yeegulidde erinnya mu bwesigwa, okutuukiriza obweyamo, obuntubulamu n’obwerufu. Mu kutuukiriza empangi zino, abaasiba ku Morrocco okuwangula (1X2) bagenda kusasulwa mu bujjuvu era mu buliwo.
Weeyongere okugoberera kkampuni ku kibanja kyayo https://lp.gsb.ug/blogs oba ku mikutu gimugattabantu.
Wabula GSB Uganda eyatandikibwawo mu 2010, ekubiriza abawagizi b’omupiira bonna okusiba akapapula oba okuzannya zzaala yenna n’obuvunaanyizibwa era mu busobozi bwabwe. Kinajjukirwa nti zzaala akkirizibwa ku bantu bokka abali waggulu w’emyaka 25.
GSB Uganda erina amatabi okwetooloola eggwanga era erina layisinsi y’ekitongole kya National Lotteries and Gaming Regulatory Board.