MU myaka 40 Pulezidenti Museveni gy’amaze mu buyinza, waliwo abantu abasoba mu 10 be yali alonze ku bwaminisita ne bakoma ku munaabo olw’ensonga ez’enjawulo.
Ku mulundi guno abantu 4 be yabadde alonze okuli; Adonia Ayebare eyalondeddwa ku bwaminisita w’ensonga z’ebweru, Shartis Musherure minisita omubeezi owa microfinance, Calvin Echodu (minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru) ne Dr. Lawrence Muganga eyaweereddwa obwa minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda bakyatubidde oluvannyuma lw’obutalayizibwa ku Mmande, okutandika emirimu. Wabula bakyalina omukisa ssinga Pulezidenti Museveni abaddiramu nga bwe yakola ku bantu abamu abaali basuuliddwa ebbali. Kyokka ate ayinza okubaleka nga bwe kyali ku bantu 10 abazze balondebwa wabula ne batayita mu kasengejja ne basubwa obwaminisita.
Akakiiko ka Palamenti akasunsula abantu abalondeddwa Pulezidenti (Appointments Committee), kaali kayisizzaako baminisita basatu okuli Echodu, Ayebare ne Musherure oluvannyuma lw’okulaga ebbaluwa ze baawandiikira amawanga gye balina obutuuze, nga babasaba babusazeemu.
Wabula ye Muganga akakiiko kaamuwandula nga kagamba nti obutafaananako na banne, ye alina obutuuze bwa mirundi esatu okuli obwa Uganda, Rwanda ne Canada era teyalaga bukakafu nti obutuuze bw’e Rwanda yabusazaamu. Kyokka ku Mmande baminisita bwe baabadde balayira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, akulira abakozi ba Gavumenti era omuwandiisi wa kabineeti, Lucy Nakyobe yagambye nti baakoze lipooti ku bantu bano abana, ng’ali n’omuwabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka, era ne bagiwa PulezidentiMuseveni asalewo ekisembayo. Bano si be basoose okutuuka ku bizibu nga bino nga bamaze n’okugolola amasuuti g’obwa minisita. Bukedde akuleetedde abantu abalala abaakoma ku lusu lw’obwa minisita naye ne batabulya. Kyokka era waliwo abaawandulwa Palamenti, naye Pulezidenti Museveni n’abayiirawo omubiri.
ABAZZE BAKOMA KU MUNAABO
Al Hajj Nasser Ssebaggala. Eyaliko Meeya wa Kampala Ntege Ssebaggala, mu June wa 2011 Pulezidenti Museveni yamulonda okubeera Minisita owa guno na guli. Wabula bwe yatuuka mu kakiiko ka Palamenti akakakasa abantu Pulezidenti b’alonze, baamuwandula nga bagamba nti ebiwandiiko bye eby’obuyigirize byali bya lusuluuju. Ssebaggala n’okwatula ekifo kye, kye baali bamuwadde ekya ‘Minister Without Portfolio’, yasiitaana ng’olulimi luzitowa okukamala, ebigambo ne bimulema okugattulula, Palamenti n’emugoba, era bwatyo akabaga ke yali ategese okwekulisa okufuuka Minisita abaakaliko baakavaako nga batintima olw’ekiyongobero. Maj. Kakooza Mutale. Mu July wa 2001, Pulezidenti Museveni yateeka Maj. Roland Kakooza Mutale ku lukalala lwa baminisita lwe yaweereza mu Palamenti. Wabula amawulire gano bwe gaagwa mu matu ga Bannayuganda, bannabyabufuzi ne bannakyewa, baasitula enfuufu ey’amaanyi nga bagamba nti yali yeenyigidde mu bikolwa eby’effujjo, ng’akolera wamu
n’akabinja ke aka Kalangala Action Plan, ke baali balumiriza okwenyigira mu ffujjo ery’amaanyi mu kalulu ka 2001.
Olw’embeera eno, Pulezidenti Museveni yawandiikira Palament bbaluwa nga July 20, 2001, n’awanduukulula erinnya lya Mutale, okusinziira ku kalaani wa Palamenti eyaliko ebiseera ebyo, Aeneas Tandekwire. Saleh Kamba. Mu June wa 2011, Pulezidenti Museveni yalonda Lt. Saleh Kamba ku bwa Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Bunyoro. Kamba yali mubaka wa Palamenti akiikirira Kibuku. Akakiiko ka Palament akasunsula bwe kaatuuka okusunsula, kaazuula ng’ebitabo bye byali bitono nnyo ku mulimu gwe baali bamuwadde era ne bamuwandula.
Kamba yeecwacwana ne yeekubira n’enduulu mu kkooti, kyokka kkooti n’egamba nti akakiiko ka Palamenti kalina obuyinza okugaana Kamba okubeera Minisita, era kkooti n’egaana okweyingiza mu ngeri Palamenti gy’ekolamu emirimu gyayo.
Hajji Muhammad Muyanja Mbabaali. Mbabaali eyali omubaka wa Bukoto South mu Palamenti, Pulezidenti Museveni yamulonda ku bwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bayinvesita mu 2011. Kyokka bwe baatuuka mu kakiiko ka Palamenti akasunsula, baamukanyuga ebbali nga bagamba nti y’omu ku “Banawoomerwa emboona”, ebitabo bye ne bigaana okuwera.
Mu kisanja kye kimu, kkooti era yasikambulayo Mbabaali mu Palamenti olw’obutaba na bitabo, n’asikirwa omugenzi Matiya Nsubuga Birekeraawo. Wabula mu 2016 Mbabaali yali amaze okwefubako n’atereeza ebitabo, era n’awangula ekifo ky’omubaka kyokka Pulezidenti teyaddamu kumulonda ku bwa Minisita. Margaret Mbeiza. Mu 2009, Pulezidenti Museveni yakola enkyukakyuka mu kabineeti, era omu ku bantu be yalonda ye Margaret Mbeiza Kisira eyali omubaka omukazi owa isitulikiti y’e Kaliro.
Mbeiza yalondebwa ku kifo kya minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gya Gavumenti mu ofiisi ya Pulezidenti. Ababaka ku kakiiko baawakanya Mbeiza nga bagamba nti alina obukosefu ku mutwe, era yajjanjabwako endwadde z’omutwe, ng’ayinza obutasobola kuweereza mu kifo ekyo. Oluvannyuma Pulezidenti yamulonda okubeera RDC w’e Mayuge mu 2012. James Kakooza. Kakooza nga ye mubaka w’abakadde mu Palamenti, era abadde omubaka mu Palamenti ya East Africa naye obwa Minisita bwamuyitako mu ngalo. Kakooza mu 2011, Pulezidenti yamulonda nga Minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako ekifo kye yalimu okuva mu 2009.
Bano baatuuyana bwe zikala okufuna obwaminisita
WALIWO abantu abaalondebwa ku bwaminisita wabula akakiiko ne kabagoba, kyokka ne basimattuka ekyambe oluvannyuma lw’okwerwanako n’okwekubira enduulu eri Pulezidenti Museveni. Idah Erios Nantaba. Mu 2012, Nantaba yalondebwa ku bwa minisita omubeezi ow’ensonga z’ettaka. Wabula bwe yagenda okumusunsula mu kakiiko ka Palamenti, akakiiko kaamusimbira ekkuuli nga kagamba talina mpapula za buyigirize. Ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kyakakasa nti empapula ze ntuufu, kyokka bwe yaddayo akakiiko ne keekwasa ensonga endala ey’empisa ze okubeera ensiiwuufu. Olw’okumukaluubiriza, Nantaba yagenda mu mawulire n’atabukira akakiiko ng’akalumiriza nti kakozesebwa ababbi b’ettaka ab’omutawaana be yali alwanyisizza n’abaanika mu disitulikiti y’e Kayunga. Bino byayongera kunyiiza kakiiko ne kagaanira ddala okumukakasa, okutuusa Pulezidenti Museveni bwe yabiyingiramu, akakiiko ne kamukakasa ng’amaze okukeetondera. Akakiiko kaamukakasa nga October 23, 2012 oluvannyuma lw’emyezi ebiri nga battunka. Alice Kaboyo. Mu 2021, Kaboyo