Ebyemizannyo

Aba Chess batandise okussa mu nkola ebiragiro bya National Council of Sports

Aba Chess batandise okussa mu nkola ebiragiro bya National Council of Sports.Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) kiyise olukiiko olwamangu olwabammenba baakyo okutema empenda kungeri gyebagenda okutuukiriza ebisaanyizo ebyassiddwawo akakiiko akalondoola ebibiina byemizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports (NCS).

Calvin Ntumwa atwala omuzannyo gwa Chess mu masomero nga aliko byatangaaza
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Aba Chess batandise okussa mu nkola ebiragiro bya National Council of Sports.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) kiyise olukiiko olwamangu olwabammenba baakyo okutema empenda kungeri gyebagenda okutuukiriza ebisaanyizo ebyassiddwawo akakiiko akalondoola ebibiina byemizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports (NCS).

omukiise ng'aliko ensonga zattaanya

omukiise ng'aliko ensonga zattaanya


Okuyita olukungaana luno kyaddiridde enongoosereza ezaakoleddwa mu tteeka lyebyemizannyo eriragira ebibiina byemizannyo byonna mu ggwanga okusooka okwewandiisa nakakiiko ka NCS. Wabula nga ekibiina tekinnaba kwewandiisa waliwo emisoso gyekirina okusooka okutuukirza egyassiddwa mu tteeka eppya kati erifuga enzirukanya yemizannyo.
Yadde nga UCF yali yasaayo okusaba okuwandiisibwa mu NCS bano baafuna ebbaluwa ku ntandikwa yomwezi oguwedde nga eraga nga bwebatannaba kutuukiriza bisaanyizo okusobola okuwandiisibwa mu bujjuvu.
Olukungaana luno nga lukubirizibwa president wa UCF Andrew Bakiza nolukiiko lwe lwetabiddwamu nabam uku bakiise okuva mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo.

president wa UCF Andrew Bakiza nga aliko ensonga zayogera mu lukungaana

president wa UCF Andrew Bakiza nga aliko ensonga zayogera mu lukungaana


Bakiza yasoose kuyitiramu bakiise ezimu ku nsonga ezaabasabiddwa okukolako amangu omuli okussaawo abaweereza, okutuusa omuzannyo mu buli kanyomwero keggwanga nokugoberera ssemateeka wekibiina ekiddukanya Chess.
Mu lukungaana lwelumu abakiise beeronzeemu banaabwe okujjuza ebifo ku lukiiko oluddukanya chess, okulungamya enkyukakyuka ezaakoleddwa mu semateeka waabwe saako nokukyusa abasigire ku akawunta za bbanka okuva ku bakulembeze abaavuddeko.
Ekibiina kyasinzidde mu lukungaana luno nekyanjula enteekateeka zaakyo ezemyaka etaano, ensengeka yemizannyo egya wano nebweru nokussaawo omubalirizi webitabo. 

olukiiko olufuzi wamu nabakozi bekibiina kya Chess

olukiiko olufuzi wamu nabakozi bekibiina kya Chess


Ekibiina kya UCF kyekimu ku bibiina 45 ebyassaayo okusaba eri akakiiko ka NCS okuwandiisibwa wabula nebatatuukiriza bisaanyizo byonna ebyabadde byetaagisa. Kati bano baabongedde ebbanga lya myezi etaano okusobola okutereeza ensobi zonna ezaabadde mu kusaba kwabwe.
Gyebuvuddeko ssaabawandiisi wa NCS Dr Bernard Ogwel yalabudde nga bwebatagenda kuwa kibiina kya byamizannyo nsimbi singa kiba tekituukiriza bisaanyizo ebyassiddwawo mu tteeka epya
Tags: