Mu liigi y’okubaka
Makindye Weyonje 37-41 KCCA
Prisons 58-43 UCU
NIC 53-31 UPDF
Mutelex Life Sport 30-50 Prisons
KCCA yalwanye okufuna wiini (41-37) ku Weyonje mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko eyayindidde ku kisaawe kya Kamwokya Sports Center.
Shakira Nassaka owa Weyonje Ku ddyo ye Hanisha Muhameed Owa KCCA.
Bakira ttiimu zombi ziri ku mbiranyi nga buli emu tekkiriza ginnaayo kugikulembera era ekitundu ekisooka kyaweddeko nga benkanya evvumbe ku bugoba (22-22).Wabula nga ‘quarter’ eyookusatu eneetera okukomekkerebwa, empagi za Weyonje kwe yabadde eyimiridde okuli; Kabendela ne Nassaka baafunye obuvune ne baggyibwa ku kisaawe ekyawadde KCCA embavu okuwangula omuzannyo n’enjawulo ya bugoba buna bwokka.
Jesse Asiimwe atendeka Weyonje yategeezezza ng’ekisinze okumukubya be bazannyi abatono b’alina oluvannyuma lw’okuviibwako bataano kw’abo be yalina sizoni ewedde ate n’atafuna bapya.
Asiina Kabendela owa Weyonje wansi ng'alaajana.
“Ekireetedde abazannyi bange okulwala, kwe kubakaka okuzannya olw’ensonga mbadde sirina benteeka mu bifo byabwe era kati tugenda kugulayo okuggumizza ttiimu,” Asiimwe bwe yategeezezza.Fred Mugerwa atendeka KCCA yacwanye olwa ttiimu erina abazannyi ba She Cranes bana ate nga bonna baabadde ku kisaawe okuvumbeera era n’awera okubakwasa omukono ogw’ekyuma. Fred Mugerwa Tabale.
Comments
No Comment