Ebyemizannyo

Uganda ekubiddwa ogusooka mu mpaka za Lacross

TTIIMU ya Uganda eya lacrosse ey'abasajja abali wansi emyaka 21 etandikidde mu kukubwa olunaku lw'eggulo.

Team ya Uganda ng'eri mu nsiike n'eggwanga lya Hongkong
By: Charles Lwanga, Journalists @New Vision

TTIIMU ya Uganda eya lacrosse ey'abasajja abali wansi emyaka 21 etandikidde mu kukubwa olunaku lw'eggulo. 

Team ya Uganda ng'eri mu nsiike

Team ya Uganda ng'eri mu nsiike

Uganda yagguddewo ne Hongkong mwebaagikubidde ku bugoba 10-4 wakati mu kuvuganya okw'amaanyi.

Team ya Uganda ng'ettunka ne Hongkong

Team ya Uganda ng'ettunka ne Hongkong

Jonathan Ojok yeyateebedde Uganda Ggoolo eyasoose  naddirirwa   Brian Mukaaga, Swib Melinga ne Yosef Ngowe n'ateeba ggoolo eya sembyeyo.

Uganda ng'eri mu nsiike

Uganda ng'eri mu nsiike

Uganda egenda kuzannya ne Sweden olwaleero akawungezi  era  ttiimu  eyagala kufuna buwanguzi bwayo obusooka.

Uganda eri mu kibinja  E  omuli  Sweden, Hong Kong, Netherlands ne Korea

Tags: