Ebyemizannyo

KCCA essizza ekikkowe bw'ekwasiddwa ekikopo kya liigi y'okubaka omwaka oguwedde, kati batunuulidde kya East Afrika

OLUVANNYUMA lwa ttiimu ya KCCA ey’okubaka okukwasibwa mu butongole ekikopo kya liigi y’oku ntikko ekya sizoni ewedde, obwanga kati babuzizza ku kweggyako kikwa eky’emyaka egisukka mu 40 nga tebawangula kya East Afrika.

Abazannyi ba KCCA nga baweereddwa ekikopo
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

OLUVANNYUMA lwa ttiimu ya KCCA ey’okubaka okukwasibwa mu butongole ekikopo kya liigi y’oku ntikko ekya sizoni ewedde, obwanga kati babuzizza ku kweggyako kikwa eky’emyaka egisukka mu 40 nga tebawangula kya East Afrika.

Ku Lwokusatu ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya Netball Uganda bwe kyakwasizza abawanguzi ab’enjawulo aba sizoni ewedde ebikopo n’emidaaali. Omukolo gwabadde ku Cooper Chimney e Lugogo.

Abazannyi ba KCCA nga baweereddwa ekikopo

Abazannyi ba KCCA nga baweereddwa ekikopo

KCCA bakyampiyoni, National Insurance Corporation (NIC) mu kyokubiri, Prisons mu kyokusatu wamu n’omuzibizi wa KCCA ne She Cranes ttiimu y’eggwanga Shaffie Nalwanja eyabadde omuzannyi wa sizoni n’abalala bonna baasiimiddwa n’ebirabo.

Omutendesi wa KCCA Fred Mugerwa Tabale, ekikopo kya liigi kino kyasoose okuwangula mu myaka 48 ng’ali mu liigi y’oku ntikko, abadde akirindiridde nga Mbaga, era bwe kyamutuuse ngalo n’akinywegera olwo n’awera nga kati bw’ayagala ekya East Afrika.

“Kino ekikwa twakikutudde, kati tusigazza ekya East Afrika, nakyo ekitwalidde KCCA emyaka kati gisukka mu 40 nga tebakiwangula, tukyagala,” Mugerwa bwe yategeezezza.

Empaka za East African Netball Clubs Championship zaakuzannyibwa omwezi ogujja mu Tanzania

Tags: