Emipiira egiriyo leero;
Njovu - Nkula e Wakisha 10:00
Njobe - Nakisinge e Kawanda SS 10:00
Butiko - Nsuma e Wankulukuku 10:00
Nkusu - Mazzi ga Kisasi e Buddo SS 10:00
BAMANEJA n’abaddukanya ttiimu z’emipiira gy’Ebika baweereddwa emipiira gye bagenda okukozesa mu mpaka z’omwaka guno egiddamu okutojjera enkya ku Lwokubiri ku bisaawe eby’enjawulo.
Ng’oggyeeko ekika ky’Empologoma n’Ekiwere ebiteewandiisa, empaka z’omulundi guno zigenda kwetabwamu Ebika 50, nga buli kimu kyawereddwa emipiira ebiri, ng’ogumu gwa ttiimu y’abawala ey’okubaka, n’ogw’abalenzi.
Omuwandiisi w’akakiiko ka Bika Football and Netball Committee (BIFONEC) akaddukanya emipiira gino Gerald Katamba yagambye nti, ‘Ebisaawe bye tugenda okukozesa byonna biri mu mbeera nnungi nga kuno kwe kuli, ekya Kawanda SS, Buddo SS, Wankulukuku ne Wakisha.