Aboolugave n'Abendiga balwana kuwangula ngabo mu gy'Ebika

Ku fayinolo y’omulundi guno yaakuzannyibwa wakati wa bazzukulu ba Lwomwa (abeddira Endiga) abaggyamu Effumbe ku mugatte gwa ggoolo 5-3 ne bazzukulu ba Ndugwa (abeddira Olugave) abaakuba Ekkobe (4-2) mu kisaawe e Wankulukuku nga March 11.

Akakiiko akategeka emipiira gy'Ebika by'Abaganda. Owookubiri ng'ova ku kkono ku batudde ye Gerald Katamba omuwandiisi w'akakiiko ne Sarah Nkonge Muwonge omumyuka wa ssentebe.
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision
#Olugave #Endiga #Wankulukuku #Bulange e Mmengo #Ekkobe

ABADDUKANYA akakiiko akategeka emipiira gy’Ebika by’Abaganda basabye abakulu b’Ebika okukunga bazzukulu baabwe okugenda e Wankulukuku okuwangira fayinolo y’emipiira gy’Ebika.

Ku fayinolo y’omulundi guno yaakuzannyibwa wakati wa bazzukulu ba Lwomwa (abeddira Endiga) abaggyamu Effumbe ku mugatte gwa ggoolo 5-3 ne bazzukulu ba Ndugwa (abeddira Olugave) abaakuba Ekkobe (4-2) mu kisaawe e Wankulukuku nga March 11.

Mu lukung’aana lwa bannamawulire olwabadde e Bulange e Mmengo, ssentebe w’akakiiko akategeka emipiira gy’Ebika Hajji Sulaiman Magala yagambye nti, “Nneebaza Ebika ebyatuuka ku fayinolo olw’okubeera abugumiikiriza era nsaba abantu okweyiwa e Wankulukuku okuwagira Ebika byabwe.”

Hajji Magala.

Hajji Magala.

Nkubiririza abakulu b’Ebika ssaako abakulira amasomero okuleeta abayizi ku fayinolo era buli mwana anajjira mu yunifoomu, waakusasula 5,000/- ate abalala ba 10,000/- n’abakungu 20,000/-. Ekika ekinaawangula kyakusitukira mu 9,000,000/- owookubiri 7,000,000/-, anaakwata ekyokusatu wakati w’Ekkobe n’Effumbe waakuweebwa 5,000,000/- ate owookuna 3,000,000/-.

Mu kubaka, Engeye egenda kuba ettunka ne Mmamba Gabunga ku fayinolo ate Olugave n’Ennyonyi Ennyange balwanire ekyokusatu. Kyampiyoni mu kubaka ajja kuvaayo ne 7,000,000/-, owookubiri 5,000,000/-, owookusatu 3,000,000/- ate owookuna 1,000,000/.