Ebyemizannyo

Ttiimu y'eggwanga eya Cricket ey'abakai egene Nepal

Ttiimu y’eggwanga ey’abakyala eya Cricket asiibuddwa okugenda mu mpaka gy'eyitiddwa mu Nepal okuvuganya okukwata ekifo ekirungi mu kaweefube w’okuyitamu okutenda mu World Cup y’abakyala eya 2024.

Ttiimu y'eggwanga eya Cricket ey'abakai egene Nepal
By: Silvano Kibuuka, Journalists @New Vision

Amawanga agatali gamu mu nsi gali mu kuvuganya okulwanira ebifo ng’abanaabeera mu bifo 20 mu nsi yonna ge bajja okuyitamu okugenda mu World Cup. Nsalessale wa October omwaka guno.

Omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS avunaanyizibwa ku by’ekikugu, David Katende y’asiibidde ttiimu ey’abazannyi 14 egenze mu mpaka za T20l n’eggwanga lya Nepal.

Bagenda kuzannya emipiira 6 wakati wa May 16-21 ku yunivasite ku Tribhuvan University Cricket Ground mu Nepal.

“Tusanyukidde empaka zino era zigenda kutuyamba okulinnya ebifo nga tuli ba 21 mu nsi yonna kati. Singa tuwangulako emipiira esatu, tujja kuddamu okulinnya,” akulira emirimu mu kibiina kya Uganda Cricket Association Martin Ondeko bwe yategeezezza.

Kapiteeni Consy Nimungi Aweko ategeezezza nti ekyabalemesa mu Namibia gye baasuulira obubonero okukka okuva mu kifo ekya 19 okudda mu 21 bakifunidde eddagala nga bakyusizza abazannyi ne bateekamu abasinga obumanyirivu abataali mu tiimu ku mulundi guli.

Ensiitaano etandika  nga 16 May eggwe nga 21.

Abazannyi abalala abagenze kuliko; Janet Mbabazi, Kevin Awino, Rita Musamali, Patricia Malemikia, Phiona Egaru Kulume, Sarah Akiteng, Susan Kakai, Rita Elizabeth Nyagendo, Franklin Najjumba, Leona Mirembe Babirye, Evelyn Anyipo, Shakirah Sadick ne Sarah Wanzala.;

Bagenze n’omutendesi Lawrence Ssematimba ng’ambikirwa Lawrence Ssempijja.

Tags: