Omutendesi wa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka Fred Mugerwa Tabale ayungudde ekibinja kya bazannyi 27 aba liigi y’awaka ne bapulo basatu okutandika okutendekebwa nga beetegekera empaka z’ensi yonna (World Netball Championship).
She Cranes Nga Yaakatuuka.
Bano batandika okutendekebwa ku Mmande (April 17) ku kisaawe kya Kamwokya Sports Center nga balinda empaka zino ezinaabeera mu Cape Town ekya South Africa wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu kisaawe kya International Convention Center.
Ensi 16 ze zigenda okwetaba mu mpaka zino mu bibinja 4 nga Uganda yaakuvuganyiza mu kibinja D omuli; New Zealand, Trindad and Tobago ne Singapore gy’eggulawo nayo mu nsiike esooka.
She Cranes n'abamu ku bakulu abagitwala.
Mu ngeri y’emu wadde ng’ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu ggwanga ekya UNF kiri mu katuubagiro ka bya nsimbi, ekibiina ekitwala okubaka mu Afrika ekya Confederation of African Netball Association kyakwasizza Uganda eddimu ly’okutegeka empaka z’okubaka ez’ekikopo kya Africa omwaka guno abasajja n’abakazi (African Men and Women Netball Championships).
Abazannyi abaayitiddwa
Abateebi; Christine Kango Namulumba (Prisons), Zam Sera (NIC), Godliver Aguti (UPDF), Asinah Kabendela ne Harriet Amoding (aba Weyonje), Irene Eyaru, Shadia Nassanga Sseggujja (aba KCCA), Mary Nuba Cholhok (Loughborough Lightning), Peace Proscovia (Surrey Storm) ne Stella Oyella (Strathclyde Sirens).
Abawuwuttanyi; Margaret Baagala, Penelope Anita, Victoria Nantumbwe ne Sarah Nakiyunga (aba NIC), Malisera Akello ne Joyce Nakibuule (aba Prisons), Norah Lunkuse, Annet Najjuka (aba KCCA), Lilian Achola (Weyonje).
Abazibizi; Shakira Nassaka ne Faridah Kadondi (aba Weyonje), Hannisha Muhameed Nakate, Christine Nakitto ne Shaffie Nalwanja (aba KCCA), Privas Kayeny (NIC), Viola Asingo, Stella Nanfuka ne Tausi Mumena (aba Prisons), Bashira Nassaazi (UCU) ne Flavia Nalule (Police).
Comments
No Comment