NCS yandisazaamu ebbaluwa z’ebibiina by’emizannyo ebikyalemeddwa okutuukiriza obukwakkulizo obwabiteekebwako

DR. Patrick Ogwel Ssaabawandiisi w’akakiiko ka NCS akatwala emizannyo mu ggwanga ayongedde okulya obuwuka n’alabula nti bandyongera okusazaamu ebbaluwa z’ebibiina by’emizannyo ebikyalemeddwa okutuukiriza obukwakkulizo obwabiteekebwako.

NCS yandisazaamu ebbaluwa z’ebibiina by’emizannyo ebikyalemeddwa okutuukiriza obukwakkulizo obwabiteekebwako
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Bino Ogwel w’abyogeredde nga wiiki ewedde NCS yasazizzaamu ebbaluwa ekakasa ekibiina ekitwala omuzannyo gw’ensambaggere ekya Uganda Kick boxing Federation olw’entalo ezikibuutikidde okuva mu 2018.

Dr. Ogwel ng'annyonnyola.

Dr. Ogwel ng'annyonnyola.

Yayongeddeko nti waliwo ebibiina ebirala 7 bye bali mu kwetegereza nga bwe biremwa okubawa embalirira ya ssente ezizze zibiweebwa okuva mu Gavumenti n’okugonjoola enkaayana ze birina ne kkiraabu nabyo ebbaluwa zaabyo zandisazibwamu.

Alabudde n’ebibiina ebyategese okulonda okw’ekiyita mu luggya okwabaddemu vvulugu nti nabyo bibuukeredde kubanga NCS yandibisimbira ekkuuli n’egaana okukakasa obukulembeze bwabyo ssinga tebigonjoola okusika omuguwa ne bammemba baabyo.