Omuzungu wa Vipers akuutidde abazannyi be mu gwa BUL FC

OMUTENDESI wa Vipers omuggya Robert Oliveira agambye nti tebagenda kunyooma BUL FC ku fayinolo z’empaka za Stanbic Uganda Cup ezigenda okutoggera ku Ssande e Jinja. 

Omuzungu wa Vipers akuutidde abazannyi be mu gwa BUL FC
NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa Vipers omuggya Robert Oliveira agambye nti tebagenda kunyooma BUL FC ku fayinolo z’empaka za Stanbic Uganda Cup ezigenda okutojjera ku Ssande e Jinja. 

Oliveira agamba nti buli mupiira bagenda kuguzannya nga fayinolo kuba ayagala kuwangula kikopo kye kisooka mu myezi ebiri gye yaakamala ku ttiimu eno. 

Vipers FC  eyasemba okuwangula empaka zino mu 2016, erina ennyonta okusitukira mu kikopo kino oluvannyuma lw’abazannyi baayo okusubwa empaka ez’omuzunzi okuli CAF Champions League ne CAF Confederations Cup. 

Ku Lwokubiri, Vipers yamezze Police 2-0 ezaatebeddwa Ceaser Manzoki ku luzannya lwa Semi ne beesogga fayinolo. 

Login to begin your journey to our premium content