Omutendesi wa volleyball addayo kutendekebwa

Omuriwe gye buvuddeko abadde Switzerland mu misomo gy’obutendesi gye yeewuunyisa abazungu olw’engeri gye yali alambululamu ensonga n’okutta ebibuuzo ekiwalirizza FIVB okumutwala ayongere okutendekebwa.

Abazannyi ba ttiimu ya volleyball eya KCCA nga basaba.
NewVision Reporter
@NewVision
#Cohort 4 of Women in Sport High Performance #Shillah Omuriwe Buyondo #Maedeh Borhani Esfahani #London #Catherine Mabwi

MUNNAYUGANDA omutendesi w’omuzannyo gwa volleyball, Shillah Omuriwe Buyondo agudde mu bintu, ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna (FIVB) bwe kimulonze okwegatta ku Bazungu n’Abafrika abalala okwongera okutendekebwa ku ddaala ly’ensi yonna.

Okutendekebwa kuno kw’abatendesi bokka abakazi (Cohort 4 of Women in Sport High Performance) nga kugendereddwaamu okwongera okubabangula n’okufuna obukugu obusukkuluma okuyamba abazannyi ba ttiimu ez’enjawulo ze batendeka.

Ng’oggyeeko Omuriwe, Maedeh Borhani Esfahani owa Iran ne Shannon Winzer omutendesi wa ttiimu ya Canada be bamu ku bagenda okwetaba mu kutendekebwa kuno okugenda okumala emyezi 21. Okusoma okumu basuubirwa okukukolera nga ku yintanenti ate emyezi egimu bagende mu London.

Shilla Omuriwe Buyondo.

Shilla Omuriwe Buyondo.

Ssinga Omuriwe amalako okutendekebwa kuno, waakulinnya amadaala mu batendesi b’omuzannyo guno okufaananako Munnakenya Catherine Mabwi n’Omuyitale Federica Tonon abeetaba mu Cohort 1 of Women in Sport High Performance gye buvuddeko.

Omuriwe gye buvuddeko abadde Switzerland mu misomo gy’obutendesi gye yeewuunyisa abazungu olw’engeri gye yali alambululamu ensonga n’okutta ebibuuzo ekiwalirizza FIVB okumutwala ayongere okutendekebwa.

Ye mutendesi yekka omukazi eyali aweereddwa omulimu gwa ttiimu y’eggwanga ey’abasajja enkulu gye yatendeka mu mpaka za CAVB African Nations Championship n’emalira mu kifo kyakutaano mu kibuga Kigali ekya Rwanda wakati wa August 19 ne September 19, 2021.

“Nasalawo okwesiba ku volleyball kuba andi ku mutima era buli kye nkola nkikola sinoonya ssente naye okubeera ekyokulabirako eri abazannyi n’abaddukanya omuzannyo guno. Okumpa omukisa gw’okuddamu okutendekebwa nkyebaliza Katonda kuba kigenda kunnyongerako nnyo,” Omuriwe bwe yategeezezza.

“Volleyball kati w’atuuse wa tekinologiya, notisi n’okutendeka tubikolera ku mutimbagano era buli bw’obeera ku kisaawe abazannyi oba obajjukiza sisitiimu gy’obadde obayisaamu, tekyetaaga kuleekaana nnyo,” Omuriwe bwe yayongeddeko.

Mu ngeri y’emu Omuriwe yawangulako ekikopo kya liigi y’eggwanga ey’abasajja ng’omutendesi wa KAVC mu sizoni ya 2014, n’okutuuka leero taddirizanga muliro.