Okoth Ochola asiimye ekitongole ekiramuzi olw'okusingisa abatta Maria Nagirinnya

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola, asiimye ekitongole ekiramuzi olw'okusingisa abatta omuwala Maria Nagirinnya ne Ronald Kitayimbwa emisango,  ne bakalagibwa ku kibonerezo kyakusibwa mayisa n'abalala ne babassa ku myaka 30.

Okoth Ochola asiimye ekitongole ekiramuzi olw'okusingisa abatta Maria Nagirinnya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Maria Nagirinnya #Okoth Ochola

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola, asiimye ekitongole ekiramuzi olw'okusingisa abatta omuwala Maria Nagirinnya ne Ronald Kitayimbwa emisango,  ne bakalagibwa ku kibonerezo kyakusibwa mayisa n'abalala ne babassa ku myaka 30.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza nti mu ngeri y'emu ne ttiimu eyali mu kunoonyereza ku misingo gino, nabo babasiimye olw'okukola obulungi emirimu gyabwe.

Ate era Enanga , agambye nti omuduumizi Ochola asiimye kkooti y'omulamuzi e Jinja ,olw'okusingisa Ferista Namaganda omusango gw'okusibwa amayisa, bwe yasingisiddwa ogw'okusaddaka omwana ow'emyaka 4, Isabella Trinity Nakisuyi eyali muwala wa landlord waabwe John Mulodi ne Annet Nakisasi ab'e Kakira cell e Jinja.

Ono yegasse ku muganzi we Musumba Joseph Serubiri owa Healing and Deliverance Church eyakkiriza omusango mu mwezi gwa August , naye ne bamusiba mayisa.

Omwana ono, yawambibwa ne bamusalako omutwe ekiwuduwudu ne bakisuula mu bikajjo e Kakira ate omutwe ne bagutwala e Wanyange.