TTIIMU y’ekibinja ekyokutaano eky’e Makindye, Nsambya Hammers FC ewonye okukyaliza emipiira gyayo mu mpya z’abantu oluvannyuma lw’okufuna ekisaawe kye bangenda okukozesanga nga amaka gaabwe sizoni ejja.
Omutendesi wa ttiimu eno, Simon Peter Mukasa agamba, “Tuzze tukozesa ebifo eby’enjawulo nga ekibangirizi ekirinaanye essomero lya Police Children School e Kibuli wabula nga wafunda nnyo ekikosa n’abasambi kuba wabadde wala.”
Omutendesi wa Nsambya Hammers, Simon Peter Mukasa.
Yagasseeko nti, “Okutandika ne sizoni ejja, gye tusuubira okutandika mu wiiki eyookusatu mu mwezi gwa November, tugenda tukyaliza ku kisaawe ky’e Lukuli ekisangibwa e Nsambya mu Kirombe Zone."
Nsambya Hammers FC y’emu ku ttiimu eyakosebwa oluvannyuma lw’ekisaawe ky’e Nsambya Miti ekisangibwa mu Gogonya I okukubibwako ekibaati kuba ge gaali amaka gaayo nga we bakyaliza ng’oggyeeko Nsambya Namukadde FC eya ligyoni.