Namungoona Boxing Cub ewera kuwumiza zinnaayo mu zisunsula ttiimu y'eggwanga

20th September 2021

NAMUNGOONA Boxing Club ewera kuwumiza zinnaayo mu mpaka z’okusunsulamu ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ ezitandika ku nkomerero y’omwezi guno. 

Namungoona Boxing Cub ewera kuwumiza zinnaayo mu zisunsula ttiimu y'eggwanga
NewVision Reporter
@NewVision
#Ebyemizannyo

Bano abaasangiddwa ku jjiimu yaabwe e Namungoona mu Lubaga baweze nga bwe bagenda okukuba buli kiramu mu kusunsulamu kw’omulundi guno kibayambe okuyisaamu abazannyi abawera ku ttiimu y’eggwanga.

Charles Ssemakalu ku ddyo omutendesi wa Namungoona Boxing Club ng'awa obukodyo abazannyi

Charles Ssemakalu ku ddyo omutendesi wa Namungoona Boxing Club ng'awa obukodyo abazannyi

Charles Ssemakalu omutendesi wa Namungoona Boxing Club yagambye ku luno ayungudde abawanvu n’abampi olwo bakube buli anaabasala mu maaso.

Mu bamu ku bazannyi kw’asibidde mwe muli Samuel Ssuubi azannyira mu buzito bwa ‘Light Middle’, Hussein Mulo Muwenda owa ‘Feather, Ukasaha Matovu ‘bantam’, Peter Brighton Lugya ‘bantam’ n’abalala.

Kiraabu ya Namungoona Boxing yetegekera zisunsula ttiimu y'eggwanga.

Kiraabu ya Namungoona Boxing yetegekera zisunsula ttiimu y'eggwanga.

Martin Lukwago Ssentebe wa kkiraabu eno agambye nti ttiimu ye agitaddemu buli kyetaago era eri mu mbeera nnungi okufuna obuwanguzi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.