Kiddiridde Nakaayi okuwangula emisinde gya ‘De l’Eure World Athletics Indoor Tour’ mmita 800 mu budde obutono (personal best). Yagiddukidde eddakiika 1:59.55 n’amenya likodi ye ebaddewo gye yateekawo ng’awangula zzaabu mu misinde gy’ensi yonna egya ‘World Athlteics Championship’ egyali e Doha mu Qatar ku ddakiika 1:58:04.
Nakaayi eyanywedde mu banne akendo.
Kuno yagasseeko okumalira mu kifo eky’okubiri mu misinde gya ‘Hauts-de-France Pas-de-Calais’ mita 800 nagyo egyabadde e Bufaransa ku 1:58.58.
Ono yalangiriddwa ku buwanguzi eggulo ku mukolo ogwabadde ku ‘Route 256’ e Lugogo n’amegga Jacob Kiplimo eyawangudde emisinde gya ‘Ras Al Khaimah Half Marathon egyabadde e Dubai kw’ossa ne Mercyline Chelangat eyawangudde empaka z’eggwanga eza ‘National Cross Country’ ezaabadde mu disitulikiti y’e Tororo.
Joaquim Chisano ku kkono, Henry Zimbe owa Jude Colour Solutions, Ayekoru, Isaac Mukasa omutegesi ne Alex Muhangi ambasada wa Fortebet (ku ddyo)
Omukolo gwetabiddwako Beatrice Ayekoru Ssaabawandiisi wa UOC akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo gya Olympics mu ggwanga ng’era ye ssaabawandiisi wa ‘Uganda Athletics Federation’ ng’ono yamukiikiridde kuba mu kiseera kino Nakaayi tali mu ggwanga.
Abalala abaawangudde kuliko Yunusu Ssentamu omuteebi wa Vipers SC eyamezze ab’omupiira, Joaquim Chisano owa kkiraabu ya Heathens eyasinze mu Rugby ate Fadilah Shamika yalidde mu Badminton.
Comments
No Comment