Bano kuliko: Catherine Adipo, Shamirah Nabadda, Lydia Nantabo, Marex Nkumbi Nakitto be bagenda okulamula empaka z’okusunsula ezitandika ku wiikendi eno mu kibuga Nairobi ekya Kenya nga ttiimu munaana okuva mu ligyoni ya CECAFA be bagenda okuzeetabamu.
Nabadda bw'afaanana
Uganda ekiikiriddwa bannantameggwa ba liigi y’abakyala eya FUFA Women Super League Champions, aba Lady abali mu kibinja A, omuli Simba Queens (Tanzania), FAD FC (Djibouti), ne PVP FC (Burundi).
Shamirah Nabadda y’omu ku bakyala abasambi gwe bakyasinze okuwa ekitiibwa olwa firiimbi gy’akomonta nga era ye teyeruma ntama bw’aba waakukuwa kkaadi eyeetagisa akikola era atiibwa nnyo abasajja mu liigi ya Startimes.
Omuwanguzi okuva ku CECAFA lijoni waakuttunka mu mpaka ez’akamalirizo ezijja okubeera e Cairo mu Egypt.