Mutabani wa Bobi ayingidde ensiike y'emisinde

Guno gwe gubadde omulundi gwa Kampala ogusoose okuvuganyiza ku mutendera gw’eggwanga

Mutabani wa Bobi ayingidde ensiike y'emisinde
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Kuyimba #Nsiike

Mutabani wa pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform(NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu, Solomon Kampala y’ omu kubajjumbidde emisinde gy’eggwanga egy’okusunsulamu abaddusi abanaakiikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo ebweru w'eggwanga egya National Athletics Trials egy’omulundi ogwokuna.

Solomon, Emabega Bwe Yabadde Yaakava Mu Mbiro Za Mmita 200.

Solomon, Emabega Bwe Yabadde Yaakava Mu Mbiro Za Mmita 200.

Gyabadde Namboole ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Guno gwe gubadde omulundi gwa Kampala ogusoose okuvuganyiza ku mutendera gw’eggwanga nga yavuganyizza mu mbiro za mmita 100 ne 200.

Mu mbiro za mmita 100 Kampala yaddukidde mu kibinja kyakusatu nga mmita 100. Yaziddukidde sekonda 12: 26 okumalirira mu kifo ekyokuna ng’ekibinja kye kyawanguddwa Kenneth Opiyo eyaddukidde ssekonda 11:49.

Oluvannyuma Kampala yavuganyizza ne mu mbiro  za mmita 200 nga muno yabadde mu kibinja kya musanvu  nga yamalidde mu kyakusatu oluvannyuma lw’okuddukira ssekonda 24:72 nga ekibinja kye kiwanguddwa Esau Emanuel mu ssekonda 23:44.

Kampala addukira mu kkiraabu ya Makerere University Athletics Club gye yeegattako mu January w’omwaka guno.

Fred Oija nga omu ku baddusi ba kkiraabu ya Makerere University Athletics Club ng’era Kampala mw’addukira ategeezezza nti okusinziira ku bumalirivu n’okwagala Kampala kw’ayolesa mu misinde yandifuuka omu ku baddusi ab’ensonga wano mu ggwanga.

“Solomon mukkakkamu ate nga amanyi ky’ayagala. Yaakaddukira Makerere emyezi ena okuva lwe yajja. Abatendesi bamuyambako okulaba nga atuukiriza ekirooto kye ekyokufuuka omuddusi asinga. Mmanyi mu myezi ena okuva kati ajja kuba mmita 100 aziddukira ssekonda 10,” Oija bwe yategeezezza.

Ate Namayo Mawerere, amyuka omuwandiisi w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde,  ekya Uganda Athletics Federation ategeezezza nti musanyufu nnyo okulaba abavubuka nga batandise okwettanira omuzannyo gw’emisinde.

“Omuzannyo guno gutandise okufuna ettutumu mu baana n’abavubuka era balina enteekateeka okulaba ng’emisinde twongera okugibunyisa mu mugigi omuto.  Mumanyi bulungi nti emisinde gye gikyasinze okuwangulira Uganda emidaali nga tekyewuunyisa kuba nga gisikiriza abaana nga abo,” Mawerere bwe yatangaazizza.

Ebimukwatako

Amannya : Kyagulanyi Sekayi Solomon

Emisinde : Mmita 100 ne 200

Kiraabu: Makerere University Athletics club

Emyaka : 17