Star Times Uganda Premier Leauge
Soltilo Bright Stars 0–3 URA, Kavumba
Ekitundu kya liigi ekyokubiri kyagiddwaako akawuuwo ku Lwokubiri (February 1, 2022) n’omupiira gumu e Kavumba bannyinimu aba Soltilo Bright Stars bwe baakubiddwa abasolooza b’omusolo (URA FC) ggoolo (3-0).
Mu mupiira guno Mukwala ye yawangudde ekirabo ky’omuzannyi w’olunaku bwe yakoledde Viane Ssekajugo paasi eyavuddemu ggoolo ya URA esooka mu ddakiika eya 26, Mukwala yabongedde mu ya 28 ate ne mu ye 90 +3.
Soltilo Bright Stars y’azze mu mupiira guno nga yaakusatu okuva wansi n’obubonero 14, kati yaakubiri okuva wansi. URA erinnye ebifo bibiri okuva mu kyomusanvu kati baakutaano n’obubonero 25.
Liigi eddamu Lwakusatu (February 2, 2022) n’omupiira gumu wakati wa Vipers SC ne SC Villa ku St.Mary’s e Kitende.