OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga Milutin Sredojevic ‘Micho’ ayungudde ttiimu ya bazannyi egenda okuttunka mu mpaka z’okusunsula nga battunka ne Algeria mu kibuga Douala e Cameroon.
Abamu ku bazannyi mu kutendekebwa.
Micho yayise abazannyi 42 abaguzannyira awaka mw’agenda okusunsula abaneegatta ku bapulo 18 nga bava mu ttiimu zaabwe ez’enjawulo abanegatta ku ttiimu e Cameroon.
Abawagizi b’omupiira enviiri zaabavudde ku mutwe eggulo nga Micho yaakalangirira ttiimu ye egenda okwegezaamu ne ttiimu okuva mu Eastern omuzannyi Allan Kayiwa owa Express akulembedde abateebi bw’ataayitiddwa ku ttiimu eno.
Omutendesi Micho.
Abazannyi abaayitiddwa kuliko; Aklionza Nafian, Joel Mutakubwa, Edward Kasibante, Norman Angufindru, James Begisa, Ashraf Mandela, Kenneth Ssemakula, Umar Lutalo, Derrick Ndahiro, Issa Mubiru, Rogers Torach, Hillary Mukundane, Fred Gift, Geoffrey Wasswa, Siraje Sentamu, George Kasonko, Said Mayanja, Ronald Kayondo, Cleophas Fiat, Bright Anukani, Moses Waiswa, Allan Okello, Ibrahim Tembo, Karisa Milton, Lazaro Bwambale, Travis Mutyaba, Rogers Mato, Sharifh Kimbowa, Charles Bbaale, Denis Omesi ne Marvin Kavuma.
Abazannyi bano baakweyanjula mu nkambi ku Mmande wiiki ejja okwongera okubangulwa.
Uganda yaakuzannya omupiira gw’omukwano ne Desert Foxes nga June 18th, 2023, nga yetegekera Algeria mu mpaka za AFCON ez’okusunsula n’oluvannyuma basembyeyo Niger mu September w’omwaka guno.
Algeria y’ekulembedde ekibinja F n’obubonero 12 nga Uganda yeenkana ne Tanzania ku bubonero 4 so nga Niger y’ekwebedde.