Manyangwa FC etaamye bugo, eramuza Big League

Tiimu y’omupiira gw'ebigere eya Manyangwa FC esambira mu kibinja kya FUFA Buganda Regional League  eyongedde okwenywereza ku kimeeza bw'ekubye Simba FC ggoolo (1-0).

Manyangwa FC etaamye bugo, eramuza Big League
NewVision Reporter
@NewVision

Ggoolo yateebeddwa Kizza Kiwatule mu mupiira ogwayindidde ku kisaawe kya Manyangwa e Gayaza.

Manyangwa kati erina obubonero 12 mu mipiira ena gye yaakasamba tanakubwaamu.

Abazannyi Ba Manyangwa Fc Nga Bajagannya Oluvannyuma Lw'okuteeba ggoolo

Abazannyi Ba Manyangwa Fc Nga Bajagannya Oluvannyuma Lw'okuteeba ggoolo

George Best Nsimbe eyali omutendesi wa KCCA FC nga kati y'atendeka Manyangwa FC nga amyukibwa Muhammad Sseruwagi.

Bano baayongedde okuwaga ne bategeeza nti ekigendererwa kyabwe kutwala ttiimu eno mu Big League.