Leero (October 14) mu liigi ya yunivasite
Kyambogo – Ndejje, Banda
KYAMBOGO ba kyampiyoni ba liigi ya yunivasite 2018 bali mu kattu sizoni eno nga bakyalwana okufuna wiini eyookubiri okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja C ekikulembeddwa Makerere n’obubonero mukaaga mu mipiira ebiri.
Kyambogo leero lw’emalayo emipiira gyayo egy’ekitundu ekisooka mu kibinja ng’ekyazizza yunivasite y’e Ndejje ku kisaawe e Banda mu mupiira ogusuubira okubaako n’obugombe kuba Ndejje gw’egwetaaga nnyo okukomawo mu kibalo ate Kyambogo eyagala kukendeeza ku bubonero Makerere bw’egisinga.
Kyambogo ye ttiimu eyaggulo sizoni eno n’omupiira ogwasooka bwe yakubwa Makerere (1-0) ku bugenyi ate ogw’okubiri yaguwangulira ku nnyondo wakati mu kwesika ebitogi ne Muni bwe yagikuba ggoolo eyeekifuusa (1-0) eyateebebwa Hudson Mbalire mu ddakiika eye 90 buli omu we yali asuubira nti guggweera mu maliri (0-0).
Omutendesi wa Kyambogo Christopher Lobbo naye ali mu kattu ssinga tawangula mupiira gwa leero. Mu mupiira ogusembyeyo nga bawangula Muni (1-0), abawagizi kata bamulyemu amaaso nga beekalakaasa nti tebategeera mupiira gw’atendeka wamu n’ennonda ya ttiimu.
“Obunkenke bwali bungi mu mupiira gwa Muni, twali tusobola okuguwangula ne ggoolo eziwerako kuba twali waka naye ne kigaana wabula tutereezezza ensobi ezaagulimu kati twagala wiini y’awaka esooka sizoni eno,” Lobbo bwe yategeezezza.
Omutendesi wa Ndejje Musa Ssekaggo agamba nti wadde baakubiddwa Makerere (3-0) mu gusembyeyo ku Arena of Visions e Luweero wiiki bbiri emabega, guno ogwa Kyambogo gwe gubakomyawo mu kibalo era bagenda kugirumba butakoowa okutuusa nga bagisuuzizza obubonero obusatu.
“Kyambogo ya linnya naye tugisobola kuba tetiisa, tuzze tugigoberera engeri gy’ezannya,” Ssekaggo bwe yategeezezza.