Bya Ismail Mulangwa
KAPITEENI wa ttiimu y’eggwanga Cranes, Kahlid Aucho avuddeyo n’agumya abawagizi nti tebabayiyeeyo mu mpaka za World Cup ez’okusunsula wabula bagenda kudda n’amaanyi mu kampeyini eziddako.
Obubaka buno yabutadde ku mukutu gwe ogwa Twitter nga yeebaza abazannyi bonna abaasobodde okulwanirira eggwanga okutuuka ku ssaawa esembayo mu kampeyini eno eya World Cup.
Mu butuufu obubonero bwe twafunye mu mpaka zino si bwetwabadde twagala wabula ntwala omukisa guno okwebaza abatendesi, abazannyi ssaako n’abawagizi abatubeereddewo wadde tebaasobodde kujja ku kisaawe okutulabako olw’ekirwadde kya COVID-19. Wabula nsuubiza nti kampeyini eziddako tujja kudda nga twetereezezza bulungi.
Uganda yamalidde mu kyakubiri mu kibinja E n’obubonero mwenda (9), Mali y eyakulembedde n’obubonero 16, Kenya 5 so nga yo Rwanda yamazeeko n’akabonero 1.