Ebyemizannyo

Kampeyini ya evuddemu obukadde 450

ABAWAGIZI b’omupiira okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo bawagidde Cranes n'obukadde 450.

Kitunzi wa Nile Special, Joel Galla (wakati) n'akulira emirimu mu FUFA, Edgar Watson (ku ddyo) nga banjula ssente ezaavudde mu 'Cranes Kabbo'
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAWAGIZI b’omupiira okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo bawagidde Cranes n'obukadde 450.

Kkampuni ya Nile Breweries ye yayanjudde ssente zino
eggulo ezaavudde mu 'Cranes Kabbo', kampeyini eyatandikibwawo okusondera Cranes
ssente ez'okugiyamba mu mipiira egisunsula abalyetaba mu World Cup ya 2026.


Omukolo gwabadde ku kitebe kya FUFA e Mengo nga kampeyini yatongozebwa mu November omwaka oguwedde.

Joel Galla, kitunzi wa Nile Breweries yagambye nti ensimbi zino baazisoloolezza mu wiiki nnya wakati wa November 18 ne December 20.
Mu kampeyini eno, buli ccupa y'omwenge gwa Nile etundibwa kuvaako 50/- ne zidda mu 'Cranes Kabbo'. Galla, yagambye nti abantu balina omukwano mungi eri Cranes n'abeebaza obuwagizi. Akulira emirimu mu FUFA, Edgar Watson yeebazizza buli muwagizi eyeenyigidde mu kampeyini

Tags: