Ku Lwomukaaga
Olympic Real de Bangui vs Vipers SC
Omuteebi wa Vipers SC, Milton Kalisa alondeddwa nga kapiteeni wa egenda okulyalira Olympic Real De Bangui eya Central African Republic mu luzannya olusooka olw’empaka za CAF Champions League. Ensiike eno yakulwanira kifo mu bibinja.
Omutendesi Robert Oliviera alangiriridde Kaliisa mu kutendekebwa okusembyeyo e Kitende ng’ono asikidde Halid Lwaliwa ategenda kutambula na ttiimu eno. Lwaliwa, agenda kugezesebwa ne ttiimu ya South Afrika eyagala okumukansa.
Abazannyi ba Vipers mu kutendekebwa
“Nja kutuukiriza obuvunaanyizibwa ku nnali mbaddeko kapiteeni wa Jinja municipal nga nkyasamba empaka za Big League,” Kalisa bw’ategeezezza.
Ye omutendesi Oliviera agumizza abawagizi ne Bannayuganda bonna nti ttiimu wadde yaviiriddwako abazannyi nga Ceaser Manziki omu ku baagiyamba okukiika, alina abazannyi abapya abalungi abasobola okugisitula. Omupiira gugenda kubeera mu Congo Brazzaville kuba Olympic Real De Bangui terina kisaawe kituukana na mutindo gwa CAF.