Gen. Katumba Wamala atongozza empaka za 'Pearl of Africa Rally'

MINISITA w’emirimu n’entambula Gen Katumba Wamala yatongozza empaka za mmotoka z’empaka eza ‘Pearl of Africa Rally Championship’ ez’omwaka guno.

Gen. Katumba Wamala atongozza empaka za 'Pearl of Africa Rally'
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Gen. Katumba ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno eggulo ku Lwokubiri nga March 15, 2022 ogwabadde ku Shell Bugoloobi mu Kampala nga yayitiddwa aba FMU ekibiina ekitwala omuzannyo gwa mmotoka z’empaka mu ggwanga.

Gen. Katumba (asooka ku kkono) oluvannyuma lw'okutongoza empaka zino.

Gen. Katumba (asooka ku kkono) oluvannyuma lw'okutongoza empaka zino.

Empaka za Pearl of Africa Rally Championship ez’omwaka guno zaakubaawo wakati wa Maynga 6 ne 8 mu disitulikiti y’e Mukono ne Buikwe. Dipu Ruparelia, pulezidenti wa FMU yagambye nti ku mulundi baakutegeka empaka zino ku mutindo ogwetaagisa.

Omukolo gwetabiddwaako abavuzi ba mmotoka z’empaka okuli Rajiv Ruparelia, Arthur Blick, Ronald Ssebuguzi n’abalala.