Ebyemizannyo

Gabriel Jesus yeekebejjeddwa abasawo ba Arsenal

Jesus waakuvuganya ku nnamba ne Eddie Nketiah ku kyoto.

Jesus, yeekebejjebwa abasawo ba Arsenal nga tannabeegattako.
By: Farouk Lubega, Journalists @New Vision

Gabriel Jesus mutaka mu kibuga London okugezesebwa abasawo ba Arsenal gye bagenda okumwekebejjeza oluvannyuma yeegatte ku ttiimu eyo mu butongole. Amawulire gaategeezezza gye buvuddeko nti Arsenal yakkirizza okusasula obukadde bwa pawundi 45, Man City bwe yabadde eyagala mu muzannyi ono era n’omusaala gwe baagukkaanyizzaako. Kigambibwa nti Jesus waakufuna emitwalo gya pawundi 19 buli wiiki nga waakufuuka omuzannyi owookuna Arsenal gwe yaakakansa mu katale k’abazannyi kano. Marquinhos, Matt Turner ne Fabio Vieira be bamu ku bazannyi abaakansiddwa Arsenal. Jesus waakudda mu bigere bya Pierre Aubameyang eyayabulira Arsenal mu katale k’abazannyi aka January era agenda kuvuganya ku nnamba ne Eddie Nketiah eyazzizza obuggya endagaano ne ttiimu eno.

Tags:
Man City
Arsenal
Ganbriel Jesus
Pierre Aubameyang
Eddie Nketiah