Ebyemizannyo

Empaka z'amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta 2026 ziwedde

Essaza lya Mawokota lisitukidde mu sseddume w'ente, bw'erimezze amalala 17 neriwangula empaka z'amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta 2026.

Abe Mawokota nente gyebawangudde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Essaza lya Mawokota lisitukidde mu sseddume w'ente, bw'erimezze amalala 17 neriwangula empaka z'amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta 2026.

Ab'e Mawokota nga bajaganya

Ab'e Mawokota nga bajaganya

Empaka zino ez'akamalirizo ziyindidde ku Bunjakko Beach mu ssaza ly'e Mawokota ku lwomukaaga, era katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga abadde omugenyi omukulu yagguddewo nokuggalawo empaka zino.

Katikkiro ng'atandika omukolo mu butongole

Katikkiro ng'atandika omukolo mu butongole

Nga tezinatandika, omutaka Gabunga Zziikwa Mubiru akulira ekika ky'e Mamba, yasoose okuwungula ku Mazzi naakomawo nakakasa Kamala byonna nti ennyanja eradde, olwo katikkiro nasimbula amaato.

Omutaka Gabunga Zziikwa Mubiru

Omutaka Gabunga Zziikwa Mubiru


Gyebiggweeredde ng'abategesi aba Mawokota basitukidde mu sseddume w'ente bwebawangudde mu mpaka za mmita 1000 ne 500,  baddiriddwa Buweekula mu ky'okubiru, Bulemeezi nekwata  kyakusatu.

Mawokota nga bajaganya

Mawokota nga bajaganya

Katikkiro Charles Peter Mayiga  yeeyabizza Eng. Ben Misagga n'olukiiko lwe olutegesi olw'empaka z'amaato eza Buganda Royal Regatta.

Agambye nti,  amaato gano gano ga njawulo kubanga gategekeddwa nga Buganda ejjukira emyaka 33 bukya Beene atuula ku Namulondo, nayozaayoza aba Mawokota abawangudde empaka , abatawangudde nabasaba obutaggwaamu maanyi wabula bongere okwetegeka.

Aba Mawokota abawangudde empaka nga battunka mu kuvuga amaato

Aba Mawokota abawangudde empaka nga battunka mu kuvuga amaato

Agambye nti, omuzannyo gw'amaato gwa dda nyo okuviira ddala ku ssekabaka Muteesa asooka eyalina eggye ly'okumazzi eryalina amaato amalwanyi agasoba mu 10,000.

N'ategeeza nti, omuzannyo guno singa gutegekebwa obulungi, gusobola okuganyula abantu bangi mu byenfuna neguleeta nenkulaakulana mu bitundu.
Yeebazizza Robert Lwanga Mugerwa nanyini Bunjakko Beach awabadde empaka olw'okuteekateeka ekifo obulungi, ne Dr Grace Sseruyange omumyuka wa Ssebwana e Busiro namwebaza okutegeka olusisira lweby'obulamu n'enkulaakulana gyaleese mu kitundu ky'e Bunjakko

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Eng. Ben Misagga

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Eng. Ben Misagga

Ssentebe w'olukiiko olutegesi olw'empaka z'amaato Eng. Ben Misagga yeebazizza abantu abazze okulaba amaato mu bungi, neyeebaza ab'amasaza bonna okuzeetabamu era nabasaba okwongera obuwagizi empaka zino zongere okukula kubanga zirimu ebyenfuna, agamba okusinziira ku kunoonyereza kwe mu nsi ez'enjawulo awali empaka bweziti, ebitundu gyezibeera n'abantu abazeetabamu bakulaakulanye, nti kale ne wano kisobola singa twongeramu obuwagizi, neyeebaza bonna bwebatambuzizza empaka zino.

Abawagizi

Abawagizi

Omwami wa ssabasajja ow'essaza ly'e Mawokota Kayima Haji Hassan Kasujja Kagga, alaze essanyu olw'essaza lye okuwangula, neyeebaza abavuzi ba Mawokota olw'obuwanguzi, neyeebaza Beene eyasiima okuleeta empaka z'amaato ez'akamalirizo e Bunjakko mu Mawokota neyeebaza na bonna abagetabyemu.

Abe Buwekula abakutte ekyokubiri nembuzi gyebawangudde

Abe Buwekula abakutte ekyokubiri nembuzi gyebawangudde

Ab'e ssaza lya Busiro bwebawangudde mu mpaka z'amaato ez'abakazi.

Abantu ab'enjawulo bawangudde ebirabo mu mpaka za Treasure hunt ezibadde ez'okuzuula obukonge obwakwekeddwa mu musenyu nga buli omu ekirabo kueuasanze ku kakonge kye kyeyawangudde omubadde omusajja awangudde pikipiki nawunga.

Ono omusajja yawangudde pikipiki mu mpaka za Treasure hunt ezibadde ezokunoonya obukonge mu musenyu

Ono omusajja yawangudde pikipiki mu mpaka za Treasure hunt ezibadde ezokunoonya obukonge mu musenyu

Abeetabye mu.mpaka z'amaato bonna bawangudde ebirabo bya ssente n'ebirala ebibakwasiddqa Katikkiro Mayiga

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
katikkiro
Buganda Royal Regatta
Empaka z'amaato
Bunjakko Beach
Mawokota
Charles Peter Mayiga