Ebyemizannyo

Ekibinja kya Bamusaayimuto 45 boolekedde Kenya

Ekibinja kyabamusaayimuto 45 bebaayoledde Kenya olunaku lweggulo nga baayise ku ttaka.

Bamusaayimuto ba Uganda boolekedde Kenya mu mpaka za Chess
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

 
Ekibinja kyabamusaayimuto 45 bebaayoledde Kenya olunaku lweggulo nga baayise ku ttaka.
Bamusaayimuto bano baakwetaba mu mitendera ebiri okuli ogwa  U-1600 ne U-1800 rating.
Baagendedde mu club ya Great Thinkers Chess Academy esangibwa ekisaasi nga ekibinja kyakulembeddwa Jude Kalanzi nanyini club.
Empaka zino za mulundi gwakusatu wabula nga yo Uganda ezetabamu mulundi gwakubiri.
Zino zezimu ku mpaka ezitegekeddwa nga Uganda yeetegekera empaka za Africa Youth Championships ezigenda okubeera e kampala omwaka ogujja.

Tags: