ESSAZA ly'e Bulemeezi liwangudde ekikopo ky'amasaza eky'omwaka guno oluvannyuma lw'okukuba essaza ly'e Gomba ggoolo 1-0 eyateebeddwa omuzannyi Johnson Ssenyonga mu ddakiika ey'e 72.
Omupiira guno gwayindidde mu kisaawe e Wankulukuku mu munisipaali y'e Lubaga-Kampala mu Kyadondo nga gulamulwa Asadu Ssemeere.
Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga ku lwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakwasizza abawanguzi ekikopo kyaabwe nga kiwezezza ekikopo eky'okusatu bukya mpaka zino ziddamu kuzanyibwa mu 2004.
Bulemeezi yawangula mu 2012, 2019 ne 2023.


Obuwanguzi buno bwagifunidde ensimbi obukadde 12 ate Gomba n'ebukayo n'obukadde 9.
Mawokota ekutte eky'okusatu efunye obukadde 7 ate Buddu ekubiddwa ggoolo 3-0 yamalidde mu kyakuna n'ebuukayo n'obukadde 5.
Nnaalinya Lubuga ng'ayambibwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yayambaza abazannyi, abakungu ba Bulemeezi ne baddiifiiri emidaali.
Empaka zino zivujjirirwa aba Airtel, Bukedde ng'afulumizibwa Vision Group, Centenary Bank, Majestic Brands.
Omupiira guno gwetabiddwako abakungu ab'enjawulo okuli eyaliko omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Edward Kiwanuka Ssekandi, Abalangira, Bannaalinya, Bannabyabufuzi naddala ababaka ba Palamenti abakulembeddwamu Ssentebe w'akabando kaabo abava mu Buganda; Muwanga Kivumbi, omukunganya w'Olupapula lwa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebbowa n'abalala bangi babaddeyo.