Ogw’ekifo ekyokusatu;
Butembe 2-1Bugabula
Fayinolo ya Masaza g'e Busoga;
Bukhooli-Namayingo 1-0 Kigulu
Arshraf Sanyu owa Bukhooli-Namayingo yateebye ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika y’e 15 n’akomya ejjoogo ly’essaza lya Kigulu mu mpaka z’amasaza ga Busoga. Kigulu yazze yeesomye okweddiza ekikopo kino omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa kyokka n’ekoma ku munaabo.
Bukhooli-Namayingo olwafunye ggoolo n’eyeeyongera okukola ennumba z'okumu kumu n’ekyaddiridde ye Kigulu okutandika okukuba endobo.
Mu mupiira gwe gumu, Kigulu yafunye ekkonde omuzibizi waabwe Ibrahim Changatta bwe yalemeddwa peneti mu kitundu kyokubiri bwe batyo ne balemwa okudda mu muzannyo.
Abazannyi ba Butembe abaakutte ekyokusatu.
Obuwanguzi bwa Bukhooli-Namayingo bwawadde amasaza amalala essuubi nti nago gasobola okuwangula ekikopo kino Kigulu, ky’emaze akaseera nga yeefuze.
"Obuwanguzi buno twabukoleredde kuba twayingira enkambi wiiki bbiri emabega. Kino kyatuyamba okwekkiririzaamu," amyuka omutendesi wa Bukhooli-Namayingo, Joseph Baraza bwe yagambye.
"Twakoledde wamu nga ttiimu nga tugoberera ebiragiro by’abatendesi eby’obutatya Kigulu," kapiteeni Douglas Soita owa Bukhooli-Namayingo bwe yagambye oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo n’obukadde 10.
Wabula omutendesi wa Kigulu, Yusuf Bagalaliwo yategeezezza nti ttiimu ye teyagwanidde kuwangula fayinolo olw’emikisa emitono gye baakoze.
Abazannyi ba Kigulu nga baweddemu amaanyi.
"Tetwakoze mukisa gimala kukakasa nti twagala okweddiza kikkopo naye tugenda kudda n’amaanyi ag’enjawulo sizoni ejja tuddemu okuwangula ekikopo kino," Bagalaliwo bwe yagambye.
Kigulu yabuuseeyo n’obukadde musanvu.
Mu gw’ekifo ekyokusatu, essaza lya Butembe lyalwanye masajja okuva emabega ne limegga erya Kyabazinga aliko kati erya Bugabula ku ggoolo 2-1.
Ggoolo za Joseph Wanja me Dickson Matama zaayambye Butembe okufuna obuwanguzi ne lisitukira mu bukadde 5. Bugabula ye yasoose okuteeba ng’eyita mu Magidu Kazindula mu ddakiika y’e 11.
Empaka z’Amasaza ga Busoga ez'omwaka guno, zeetabiddwaamu amasaza gonna 14 agakola Busoga.
Kkampuni ya MTN Uganda ne Mayuge Sugar zaataddemu omugatte gwa bukadde bw’ensimbi 455.
Abazannyi abaasinze mu mpaka zino;
Omuzannyi omuto asinze - Lukeman Lwanga (Bugabula)
Ggoolokipa asinze - Abubakar Kisumba (Kigulu)
Eyalidde eky’obuteebi - Rajab Waiswa Kasango - ggoolo 8 (Bugabula)
Omuzannyi w’empaka - David Oketcho (Luuka)