Ebyemizannyo

Vipers ekubye Villa bbusu n'egitwalako ekikopo

“Ebyo bibaawo. Temufaayo, mujja kudda n’amaanyi sizoni ejja.” Mandela bwe yawuliddwa ng’ategeeza omu ku bazannyi ng’omupiira guwedde.

Seif Batte owa Villa ng'akulukuta n'omupiira.
By: Silvano Kibuuka, Journalists @New Vision

Egyaggaddewo liigi ya StarTimes;

SC Villa 0 -1 URA

Vipers SC 5- 0 Busoga United

KCCA 5 – 0 Solito Bright Stars

UPDF 1 – 4 Onduparaka

Blacks Power 3 – 1 Express

Maroons 0 – 0 BUL

Arua Hill 1 – 0 Wakiso Giants

Abawagizi ba SC Villa beeyiye mu bungi e Wankulukuku nga bawanise bendera n’okukuba embuutu nga bamanyi nti ekikopo kya liigi ekya sizoni eno kibali mu ttaano.

Omupiira baagutandise nga bakulembedde ttebo ya liigi ya Star Times n’obubonero 52 sso nga Vipers ne KCCA balina 50 buli emu. Baabadde beetaaga kuwangula URA mu ngeri yonna okufuna obunonero busatu kyokka essuubi ne libaggwaamu mu ddaliika y’e 61 Najib Fesali bwe yabateebye olwo ababadde baagala ggoolo emu be batandika kunoonya bbiri.

Ttiimu ya Villa eyatandise.

Ttiimu ya Villa eyatandise.

Wabula olw’abateebi ba Villa okuli; Charles Bbaale ne Seif Batte okusubwa emikisa emingi, essuubi ly’ekikopo ne likoma awo. Villa yazze mu nsiike eno nga wiini egimalako ennyonta y’emyaka 19 gy’emaze nga tewangula kikopo kya liigi kyokka kati gyeyongenddeko.

Abakungu ba SC Villa abaakulembeddwa pulezidenti wa ttiimu eno, Haji Omar Mandela beesozze ekisaawe okugumya abazannyi abamu bakira abayunguka amaziga oluvannyuma bw’okusubwa okuwangulira kiraabu ekikopo.

Abalala kwabaddeko Franco Mugabe, Gerald Ssendaula, Godfrey Kasiita, Medi Nsereko n’abalala nabo baayogedde n’abazannyi.

Abakungu ba Villa nga babuuza ku bazannyi.

Abakungu ba Villa nga babuuza ku bazannyi.

“Ebyo bibaawo. Temufaayo, mujja kudda n’amaanyi sizoni ejja.” Mandela bwe yawuliddwa ng’ategeeza omu ku bazannyi ng’omupiira guwedde.

Abawagizi baalabise okusiima omutindo gwa ddiifiri Badru Sabila ne banne era nga waabuzeewo amusongamu olunwe.

Wabula abamu olukongoolo baalutadde ku mutendesi wa URA, Sam Timbe gwe baalangidde nga bbaasi yaabwe efuluma nti ye yabalemesezza ekikopo.

Mandela ng'agumya abazannyi ba Villa.

Mandela ng'agumya abazannyi ba Villa.

“Timbe oli mubi nnyo. Lwaki otulemesezza ekikopo. Obadde ofaaki,” bye bimu ku bye baalangidde omutendesi wa URA mu kufuluma ekisaawe.

Timbe yaliko omutendesi wa Villa n’abawangulira n’ekikopo kya CECAFA. Omumyuka wa Sipiika Palamenti, Thomas Tayebwa y’omu ku baalabye omupiira guno ng’ayambadde omujoozi gwa SC Villa.

Tags:
StarTimes Uganda Premier League
SC Villa
Vipers
Gerald Ssendaula
Omar Mandela