Kivudde ku ggoolo ebiri Bayo ze yateebedde Cranes bwe yabadde emegga Rwanda mu nzannya ebiri mu zisunsula abaneetaba mu World Cup omwaka ogujja e Qatar.
Bayo 23, alangiriddwa ne banne abalala abasinze mu mizannyo egy’enjawulo ku mukolo ogubadde ku ‘Route 256’ e Lugogo nga Patrick Kanyomoozi Pulezidenti wa USPA ekibiina ekitwala bannamawulire abasaka ag’emizannyo mu ggwanga yamukiiridde.
Ono amezze banne okuli Fauzia Najjemba ssita wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’abakyaala ne kkiraabu ye eya Kampala Queens kw’ossa Charles Lukwago ggoolokipa wa Cranes ne St. George eya Ethiopia.
Abalala abawangudde engule kwe kuli Irene Nakalembe asinze mu ‘golf’, Joseph Aredo omuzannyi n’asitukira mu ky’omuzannyi eyasinze mu ‘Rugby’, Pascal Mulungi n’amegga aba Cricket ate musaayi muto Abdul Latif Ssendyowa n’asitukira mu ky’omuzannyi wa tena ow’omwezi.
Comments
No Comment