KABOWA High School yeefuze empaka za Inter-Secondary Schools sports Championship ezaasookedde ddala. Empaka zino zaategekeddwa ekisomesa kya St. Kizito Sub Parish, Ndeeba - Kabowa.
Zaakomekkerezeddwa ku wiikendi ku kisaawe kya Kitebi P/S nga zeetabiddwaamu amasomero 6 okwabadde; Kabowa High, Vienna High, London High, Jakayza High, St. Joseph Centenary Ndeeba ne Victory High.
Kabowa okusukkuluma mu gonna yakung’aanyizza obubonero 36 nga yawangudde emisinde, Tracy Kyomuhendo mwe yabaleetedde zaabu 4 ate Vincent Onen n'abawa zaabu 2 n’ogw’ekikomo 1. Mu mizannyo emirala
kw’abaddeko omupiira n’okubaka nga gyombi gyawawanguddwa Vienna High.
Bwanamukulu w’ekiggo kino Simon Peter Ssekyanzi yategeezezza nti empaka zino zaakubeerawo buli mwaka n’ekigendererwa ky’okunnyikiza eddiini mu masomero, okunyweza obumu, okukuza ebitone n’okukulizaako olunaku
lw’omuwolereza St. Kizito.