Pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga, ekya Uganda swimming Federation Moses Mwase nga awerekeddwako omumyuka we Tonny Kasujja omuwuzi kirabo Namutebi wamu ne nnyina Hadijja Namanda batongozza kkiraabu y’okuwuga esoose mu disitulikiti y'e Wakiso.
Moses Mwase (ku ddyo) ng'ali n'omu ku bazadde.
Omukolo ogutongoza kkiraabu eno eya Hertz Swim Club gubadde ku Joy Centre e Wakiso era Mwase asinzidde wano n’akunga disitulikiti endala okukoppa Wakiso. Kiraabu ya Hertz Swim Club erina abawuzi 30 nga omutandisi waayo Aksam Magoola mugumu nti omuwendo guno gwakweyongerako."Okusoomoozebwa kwe tusinze okusanga kwe kuba nga abazadde eno bamanyi kitono ku muzannyo gw'okuwuga. Ebintu ebikozesebwa mu kuwuga bya bbeeyi era omuzadde atamanyi bifa ku muzannyo gwa kuwuga kiba kizibu okubireetera mu kiseera.
Maama W'omuwuzi Kirabo Hadijja Namanda ng'ayogera. Abawuzi Nabazadde
Ekirala kwekuba nga abantu bakyalina endowooza nti omuzannyo guno gwa bagagga. Njagla okukubiriza abantu bonna mu wakiso okwettanira okuwuga era nga mmanyi nti mu bbanga eritali lya wala tujja kuba tulina abawuzi bakafulu," Magoola bwe yategeezezza.
Omuwuzi Kirabo Namutebi akubirizza bamusaayi muto okuwulira ennyo abazadde wamu n’okufaayo ku batendesi bye babagamba nga bwe banaasobola okubeera abamanyi mu muzannyo guno.
Pulezidenti w'ekibiina ky’okuwuga Moses Mwase asinzidde wano n’alangirira nga bwe bali mu nteekateeka ezitandika empaka z'okuwuga mu buli disitulikiti nga kino kijja kuyamba okukuza omuzannyo gw’okuwuga mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo.Nnannyini Kiraabu Ya Hertz Aksam Magoola Ng'akwasibwa bendera Y'ekibiina Ky'okuwuga.
"Kye tugenda okuyambako kwe kutendeka abatendesi mu disitulikiti ez’enjawulo okulaba nga batuukana n’omutindo nga kino kyakuyamba n’abawuzi okufuna obukugu obwetaagisa," Mwase bwe yatangaazizza.
Abawuzi n’abazadde basanyukidde eky’okutongoza kkiraabu eno mu Wakiso ne bategeeza nti yaakubagasa nnyo. Diana Nitwingana Twesigomwe ategeezezza nti eky’okubeera ne kkiraabu n'ekidiba ekiwugirwamu kyakuyamba nnyo abaana baabwe.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda swimming Federation omwaka guno kirina enteekateeka ebunyisa omuzannyo guno mu disitulikiti eziri mu 10.