Arua Hill eri ku kigezo kya Maroons

OMUTENDESI wa Arua Hill, Livingstone Mbabazi ali ku puleesa oluvannyuma lw’okumala emipiira esatu egy’omuddirig'anwa nga tafuna buwanguzi mu liigi ya Star- Times Uganda Premier League.

Arua Hill eri ku kigezo kya Maroons
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Leero mu StarTimes Uganda
Premier League;
Arua Hill - Maroons FC, 10:00
Mbarara City - Kitara FC, 10:00
OMUTENDESI wa Arua Hill, Livingstone Mbabazi ali ku puleesa oluvannyuma lw’okumala emipiira esatu egy’omuddirig'anwa nga tafuna buwanguzi mu liigi ya Star- Times Uganda Premier League. Leero, bakomawo mu nsiike nga bayigga buwanguzi bwa mulundi gwakubiri bukya liigi etandika nga battunka ne Maroons emu ku ttiimu eziri ku ffoomu sizoni eno kuba mu mipiira gyayo 5 ekubiddwaamu gumu gwokka.
Arua Hill sizoni eno ebintu tebinnagitambulira bulungi era bukya yeegatta mu liigi mu 2022 eno ye sizoni yaabwe gye basoose okwolesa omutindo gw’ekibogwe.
Muhammad Senfuma atendeka Maroons FC agambye nti omupiira guno tegugenda kuba mwangu kuba Arua Hill ebadde tefuna buwanguzi nga era bagenda kukozesa amaanyi ag'enjawulo okulaba nga bafuna obubonero.
“Tetugenda kunyooma kuba twagala bubonero 3 okussa akazito ku ttiimu ezituli mu maaso,” Senfuma bwe yategeezezza.
Ttiimu zombi zaakasisinkana enfuda bbiri zokka nga buli omu awanguddeko gumu era Arua Hill y’ekoobedde mu liigi n’obubonero 5 sso nga Maroons eri mu 6 n’obubonero 16.
Mu ngeri y’emu Brian Ssenyondo owa Kitara FC alumbye Mbarara City eyamufuumuula mu sizoni ya 2021. Ayagala kubeesasulizaako olw'obutamulabamu
mugaso mu kiseera we yabatendekera. Kitara eri ku ffoomu okukira ku Mbarara City eyaakawangulayo omupiira gumu gwokka sizoni eno nga gwali gwa KCCA (2-1). Batabani ba Ssenyondo aba Kitara bavumu okuwangula ensiike eno oluvannyumalw'okumegga Express wiiki ewedde (1-0). Kitara yaakusatu n’obubonero 22 sso nga Mbarara eri mu kya 10 ku 12.