Ab'emifumbi balinze ffirimbi mu mpaka za Mr. Uganda

ABAZANNYI b’emifumbi abasoba mu 100 balinze ffirimbi yokka bubeefuke mu mpaka za ‘Mr Uganda’ ez'omwaka guno.

Ab'emifumbi balinze ffirimbi mu mpaka za Mr. Uganda
NewVision Reporter
@NewVision
#Ebyemizannyo

Zaakumbujjira ku ‘Horse Power Fitness Gym’ enkya ku Lwomukaaga November nga 20.Empaka zino ze ziggalawo kalenda y’ekibiina kya Uganda Body Building and Fitness Association’ (UBBFA) omwaka guno.

Daniel Mwesigwa eyawangudde empaka za Mr Kampala ng'apika emifumbi.

Daniel Mwesigwa eyawangudde empaka za Mr Kampala ng'apika emifumbi.

Okuvuganya okw’amanyi kuli wakati wa Godfrey Lubega eyawangula empaka za ‘Mr Kampala’ eza 2019 ne Daniel Mwesigwa eyamusuuzizza engule ye mu mpaka ze zimu omwaka guno.

Geofrey Lubega eyawangudde ekya Mr-Kampala n'ekyana

Geofrey Lubega eyawangudde ekya Mr-Kampala n'ekyana

Lubega aweze okunyiga Mwesigwa ebinywa n’ensikya amwesasuze olw’okumusuuza engule ye.

Empaka zaakuyindira e Muyenga ku ‘Horse Power Fitness Gym’ era okusinziira ku Kent Arereng omwogezi wa UBBFA buli kimu kiri bulindaala balinze ssaawa yokka.