Abeemifumbi beepikira mpaka za Mr. Kampala

ABAZANNYI b’emifumbi abasoba mu 50 batandise okwetegekera empaka z’eggwanga eza Mr Kampala ez’omwaka guno.

Abeemifumbi beepikira mpaka za Mr. Kampala
NewVision Reporter
@NewVision
#Ebyemizannyo

Bano nga bakulembeddwa Daniel Mwesigwa eyawangula empaka zino omwaka oguwedde, Godfrey Lubega kyampiyoni wa 2019, Axam Kisekka, Ronnie Kalule, Frank Owash n’abalala baali mu kutendekebwa kaasammeeme era buli omu awera kuzisitukiramu.

Abamu ku bazannyi b'empaka zino.

Abamu ku bazannyi b'empaka zino.

Kent Arereng omwogezi w’ekibiina kya ‘Uganda Body Building and Fitness Association’ (UBBFA) kitwaala omuzannyo guno mu ggwanga agamba empaka z’omwaka guno zaakubumbujjira ku Horse Power Fitness Gym e Muyenga ku ntandikwa y’omwezi ogujja.

Ekifo kino kye kyategese n’empaka za Mr Uganda ezaawanguddwa John Kalitwa mu bassajja ne Sharon Nanyonjo mu bakyala mu November w’omwaka oguwedde.